Katikkiro mu kifaananyi n'abamu ku bakulira ebitongole by'Obwakabaka eby'enjawulo.

Katikkiro Alambudde Ebitongole By’Obwakabaka N’akunga Abakozi ku Bwerufu

0 minutes, 57 seconds Read

BYA BRENDA NANZIRI

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alambudde ebitongole by’Obwakabaka ebikakkalabiza emirimu gyabyo ku kizimbe kya Muganzirwazza e Katwe mu kibuga Kabaka eky’e Kampala.

Mu bitongole Katikkiro by’alambudde kuliko, Weerinde Insurance Brokerage Services Ltd, K2 Telecom, Namulondo Investment Ltd, ne Mmwanyi Terimba Ltd.

Okulambula kuno kugendereddwamu okumanya abakozi abaddukanya emirimu  gy’ebitongole bino, n’okwongera okussaawo empuliziganya n’abakozi bano.

Kamalabyonna akubirizza abakozi okubeera ba kitunzi b’Ebitongole byabwe nga bakozesa omukisa gw’erinnya ly’Obwakabaka abantu lye bamanyi obulungi.

Akalaatidde abakozi okubeera abeesigwa eri Obuganda kuba Kabaka ye yabawa emirimu era be balina okuyimirirawo okuwanirira obuganda, kisobozese Buganda okudda ku ntikko.

Abakubirizza okubeera abajagujagu, ate bakole mu bwerufu beewale okukukuta mu bitaliimu era ebitaggya nsa kubanga okukukuta tekugaggawaza.

Katikkiro akyukidde abakulira ebitongole bino n’abasaba okubeera eky’okulabirako nga  beebuuza ku bakozi be bakulembera bwe gutuuka ku nsonga z’eby’enkulaakulana era ba babuulire abantu bwe beezimba.

Era abasabye obutakaaba bizibu kubanga tebitwala kitongole mu maaso, wabula banoonye amagezi agavvuunuka ebisomoozo ebyo.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!