Katikkiro ng'ayogera ne Joel Ssenyonyi akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti.

Katikkiro Asaasidde Abavubuka Abalumiziddwa Kibuyaga Bw’agoyezza Ttenti mu Lubiri

1 minute, 24 seconds Read

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asiisidde abavubuka abalumiziddwa kibuyaga atategeerekese gy’avudde bw’abalumbye mu Lubiri lwa Kabaka gye babadde nga bajaguza n’okukuza olunaku lw’abavubuka mu Buganda.

Kigambibwa nti kibuyaga ono agoyezza ttenti abantu ab’enjawulo ne balumizibwa era ne baddusibwa mu malwaliro ag’enjawulo ng’embeera yaabwe si nnungi. Okusinziira ku babaddeyo, embeera eno ebaddewo ng’emikolo ginaatera okutuuka ku nkomerero. Wabula ggwo omuwendo gw’abo abalumiziddwa tegunnategeerekeka.

Obubaka bwa Katikkiro obusaasira bw’ayisizza ku kibanja kye ekya X ekimanyiddwa ennyo nga Twitter bugamba bwe buti;

“Nsaasira nnyo abantu abakoseddwa olwa kibuyaga akunse nga tunaatera okumaliriza omukolo gw’olunaku lw’abavubuka leero mu Lubiri.

Nneebaza abategesi olw’okukola enteekateeka okutaasa abafunye obuzibu era tubasabira okussuuka obulungi.”

N’akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti, Joel Ssenyonyi ayise ku mukutu gu mugattabantu ogwa Facebook naye ne yeegatta ku Katikkiro n’asaasira abalumiziddwa.

Mu kusooka, Katikkiro yategeezezza nti;

“Tetwagala muvubuka ow’omulembe Omutebi kuwoza nti Gavumenti etuyambe era mu kukuza olunaku lw’Abavubuka mu Buganda omwaka guno omulamwa gusimbye ku bukugu, obuyiiya n’ebitone.

Omuvubuka anaawangula ateekwa okubaako ekintu ky’akugukamu, n’akozesa obuyiiya okuzuula eddibu n’aliziba ng’akola ekyo ekiriko obwetaavu ate n’azuula n’ekitone kye era n’akikozesa bulungi anti ekitone ky’otavumbudde kifaananako zaabu atazuuliddwa.

Nneebaza Minisita w’Abavubuka Owek. Robert Sserwanga ne baakoze nabo okuteekateeka omukolo guno, ogubaddemu ebirungo eby’enjawulo.”

Abavubuka abaweredde ddala okuva mu masaza ga Kabaga ag’enjawulo be beetabye mu kukuza olunaku lwabwe. Bano beetabye mu mizannyo egy’enjawulo ng’okusooka baatandise na bugaali bwa mpaka, ekigwo ggumbya n’ebirala bingi omuli n’okulya mu ndago.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!