Nnamutikwa w’enkuba eyafudembye mu kiro ng’ajjuddemu kibuyaga amanyiddwa ng’ensoke n’omuzira agoyezza ebyalo munaana ebisangibwa mu ggombolola y’e Buwooya mu disitulikiti y’e Buvuma mu bizinga.
Abamu ku batuuze abakoseddwa okuli Edmond Kakunguru, Victoria Logose n’abalala batunnyonnyodde engeri gye baakoseddwamu okuli amayumba agaabambuseeko obusolya, ebirime omuli ebitooke, muwogo, lumonde n’omuceere kibuyaga bye yagoyezza.
Logose atulambuzza engeri amazzi gye gaayanjadde mu kibangirizi w’abadde alimira ng’omuceere ogubadde gutuuse okukungulwa guli mu mazzi talina w’ayita kutuukayo kugukungula.
Omu ku kaamulali amanyiddwa nga Green Pepper alabiddwa ng’atandise n’okuwotoka oluvannyuma lw’okubeera mu mazzi ebbanga eddene agamukosezza n’atandika okukala.
Amayumba agawerera ddala kibuyaga yagalese ku ttaka ssaako ago ge yabambuddeko obusolya nga bannanyinigo ne’ky’okuzzaako tebakirina.
Ssentebe w’eggombolola eno, Samuel Loma annyonnyodde Kyaggwe TV engeri abatuuze be gye baakoseddwamu n’asaba gavumenti ng’eyita mu woofiisi ya Ssaabaminisita ey’ebigwa bitalaze okuvaayo ebadduukirire.
Omubaka Robert Migadde Ndugwa akiikirira ebizinga by’e Buvuma mu palamenti alambudde abatuuze abaakoseddwa n’agenda ng’ayogerako nabo n’okubagumya.
Migadde era bano abadduukiridde n’ensigo za kasooli n’abalagira bave mu kwekubagiza basimbe kasooli ono anaabayamba okuwona enjala mu maaso awo. Abamu ku baakoseddwa omubaka abawaddeyo ku nsimbi zibayambe okweddaabulula.