Kibuyaga asse 2 n’okulumya abalala-amayumba 500 agatikkuddeko obusolya

3 minutes, 59 seconds Read

Ekikangabwa kyabuutikidde abatuuze abawangaalira mu bizinga by’e Buvuma abavubi babiri bwe baakubiddwa kibuyaga nga bagenze e buziba mu nnyanja okuvuba. Kibuyaga ono ow’amaanyi abalunyanja gwe bayita ensoke yakubye ebizinga eby’enjawulo mu disitulikiti y’e Buvuma abaayo n’abaleka nga bafumbya miyagi.

Kigambibwa nti aliko abavubi babiri be yasse nga bano yabasanze buziba mu nnyanja nga bali mu kuvuba n’asena eryato lyabwe n’abadima mu nnyanja.

Ezimu ku nnyumba kibuyaga ze yalese ku ttaka.

Omubaka w’e Buvuma mu palamenti, Robert Migadde Ndugwa yagambye nti baategedde nga bano kuliko Ashiraf Mudiba n’omulala eyategeerekeseeko nga Balion nga bano baasanze lyato ku nnyanja nga liseyeeya ng’abalibaddemu tebalabikako. Bano baabadde b’e Lukale mu ggombolola y’e Nairambi.

Omuyaga guno kigambibwa gwasinze kukosa ttawuni kkanso y’e Lubya okuli ab’e Kirewe, Namiti, Makaraga ne Laboro abaayo baasigadde bagwasimula bugolo.

Waliwo n’abalumiziddwa omuli jjajja amabaati gwe gaatemye olubale ku mutwe n’omukono gwe baasaze ng’era baamutunze butunzi sso nga ye muzzukuluwe naye yasaliddwa mu kyenyi n’ebisago ebirala.

Bano abaaweereddwa ekitanda mu ddwaliro lya Kirewe Health Centre II kuliko; Miriam Anyango (60) ne muzzukulu we ow’emyaka esatu Arene Akoth.

Anyango ne muzzukulu we Akoth mu Kirewe Health Centre II gye baabawadde ekitanda nga bwe bafuna obujjanjabi.

Anyango yategeezezza nti wakati mu mbeera nga yasigadde talina ky’alina kuba n’ebintu ebyabadde bisigadde mu nnyumba baabibbye, ate mu ddwaliro olw’obutabeerayo ddagala abasawo baabasabye okwegulira eddagala sso nga n’ensimbi talina n’asaba abazirakisa okuvaayo babadduukirire.

Baatubuulidde embeera mwe bali wadde nga we baagendeddeyo nga bali bubi nnyo. Omuyaga guno gwaliwo ku Lwomukaaga akawungeezi wakati wa ssaawa emu n’ekitundu ne ssaawa bbiri ez’akawungeezi.

Omusawo akola mu kalwaliro ka Kirewe Health Centre II, Andrew Balyemeka yayogedde ku mbeera gye bayitamu nga n’eddagala wadde ebikozesebwa tebalina. Eky’akabi era eky’obulabe ng’omusawo oba oly’awo n’eri n’abalwadde kwe kuba nti wadde baabadde n’ebisago eby’amaanyi era nga battulukuka musaayi, olw’obutaba na giraavuzi, bano baabatunze na ngalo nsa nga tebasoose wadde okubakebera oba balina akawuka ka mukenenya.

Amayumba agakunukkiriza mu 500 ge gaakoseddwa sso ng’ate abantu mu kiseera kino abatalina we basula bali eyo mu 1000 n’okusoba omuli abaana abato n’abakadde.

Joweri Bagume agamba nti okuleka omuyaga ogwabayonoonera ebintu bwe gwatikkula akasolya ku nnyumba ye n’ebifunfugu okubakuba, ate abantu baayingira mu mayumba ag’enjawulo ne babbamu ebintu ne bafiirwa emirundi gyonna nga kati bali awo tebamanyi kiddako.

Omubaka Migadde ng’akwasa abatuuze ensimbi zibayambeko okuyita mu mbeera eno.

“Empewo eno amanyiddwa ng’ensoke yazinzizinze amabaati ku nyumba yange n’eza baliraanwa bange n’egakasuka eri. Ndi mukazi nnamwandu ali ku ddagala ate nnina n’abaana, eky’okulya, eky’okwebikka byonna tetubirina. Tusaba mutuyambe, gavumenti etudduukirire,” Grace Atwagala bwe yategeezezza.

Amasomero, amasinzizo bye bimu ku bitaalutonze ng’era twogeddeko n’abamu ku batuuze abaakoseddwa mu mbeera eno ne batusindira ennaku.

Vincent Okello, ddayirekita w’essomero lya Grolyland Academy ategeezezza nti mu kiseera nga bateekateeka bayizi ba P.7 kutandika kukola bigezo, ate baafunye ekikangabwa eky’omuyaga guno ogwabakosezza ennyo bweguti n’amasomero ne gugaleka ku ttaka.

Ku kizinga kino eky’e Kirewe, essomero okuli Namiti P/S erya bonnabasome, n’eddala erya St. Francis P/S nga lya bwannanyini ge gamu ku kibuyaga ge yatikkuddeko obusolya.

Omubaka Migadde yategeezezza nti mu mbeera eza bulijjo, ebitundu bwe bifuna obuzibu nga buno, abantu baddukira mu masomero n’amasinzizo ne babeerako eyo kyokka nga ku mulundi guno, n’amasomero nago gaalugendeddemu.

Bano baasabye gavumenti ng’eyita mu minisitule y’ebigwa bitalaze ebadduukirire mu bwangu n’ebikozesebwa omuli n’eby’okwebikka, ttenti ez’okusulwamu, amabaati n’ebirala.

Omu ku batuuze kibugaya be yasuulidde ennyumba ng’atudde ku kitanda mu kisenge we babadde basula nga kati kiri mu kyangaala.

Susan Nakaziba nga ye mubaka wa palamenti omukyala ow’e Buvuma naye yalambudde ku batuuze abaakoseddwa ng’ono ng’ali wamu ne Migadde, baagenze bakwatira abatuuze abaakoseddwa ensimbi bagire nga batambuza obulamu nga bwe bafuna eky’okulya olwo ate ne gavumenti w’enaabasangira.

Ku kizinga ky’e Kirewe, ababaka baaleseewo ensimbi obukadde bubiri n’emitwalo nkaaga nga n’ebizinga ebirala baagenze balekayo ensimbi okulaba ng’abantu bafuna entandikwa okuva mu kiseera ekizibu kye bafumbekeddemu.

Fred Opondo nga ye ssentebe wa Lubya tawuni kkanso yalaze okunyolwa olw’abantu ab’emitima emibi abaayagadde okukolera mu kiseera nga bannaabwe bali mu maziga baakaaba nga wano yasabye ababbye ebintu bya bannaabwe okubibaddiza mu bwangu nga tebannabiyingizaamu baabuyinza.

Ababaka Migadde ne Nakaziba baasuubizza okutwala alipoota gye baakoze eraga abantu bwe baafiiriddwa mu woofiisi ya ssaabaminisita wa gavumenti basobole okubadduukirira.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!