Ekikangabwa kibuutikidde ekyalo Kijabijo C mu muluka gw’e Kimwanyi mu Kira Division ne batta omukuumi w’oku bbaala.
Ekikangabwa kino kyaguddewo mu kiro ekikeesezza olwa leero. Kigambibwa nti abatuuze basuze ku tebuukye oluvannyuma lw’ababbi okulumba ekyalo mu kiro ekikeeseza olwa leero ne banyaga Supermarket emanyiddwa nga A and W Shoppers Supermarket oluvannyuma ne balumba ebbaala ya Source Bar ne batta omukuumi abaddewo bw’abadde agezaako okulwanagana nabo ne bamusinza amaanyi.
Omukuumi atiddwa ategeerekeseeko lya Kawuulu nga atemeza mu gy’obukulu nga 25.
Mark Mukiibi Sserunjoji kkansala akiikirira omuluka gw’e Kimwanyi mu kkanso ya munisipaali y’e Kira agamba nti abazigu bano babadde batambulira mu mmotoka ekika kya Spacio.
Mu kadde kano, ab’eby’okwerinda nga bakulembeddwamu poliisi n’amagye beebulunguludde ebifo eby’enjawulo omubadde obulumbaganyi nga babakanye n’eddimu ery’okunoonyereza okulaba nga bagwa mu buufu bw’abatemu bano.
Uganda Law Council Denies Kenya’s Martha Karua Practicing License