Kitalo! Abadde Ddereeva wa Nnaabagereka Okumala Emyaka 20 Afudde!!!

1 minute, 13 seconds Read

Nnaabagereka Sylvia Nagginda mu bubaka bwe, alaze okunyolwa olw’okuviibwako omuweereza ono gw’agambye nti abadde muwulize nnyo ate ng’ayagala nnyo omulimu gwe.

Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde Corporal Julius Mukasa Mulyanga ng’ono abadde mukuumi era ddereeva wa Maama Nnaabagereka okumala emyaka 20.

Wabaddewo okusaba kw’okwebaza Katonda olw’obulamu bwa Corporal Mulyanga mu kkanisa ya St. Stephen’s e Kireka, era Nnaabagereka, abakungu mu Bwakabaka, mu ggye lya UPDF, abooluganda n’emikwano bakwetabyemu.

Corporal Julius Mulyanga NGA bw’abadde afaanana.

Mu bubaka Katikkiro bw’atisse Minisita Coltilda Nakate Kikomeko atenderezza obukakkamu n’obwegendereza bw’omugenzi mu buweereza bwe naddala mu bbanga ly’amaze ng’avuga Nnaabagereka. Asaasidde nnyo abooluganda lwe, Nnamwandu n’abaana n’asaba Katonda abagumye n’omugenzi amuwummuze mirembe.

Nnaabagereka Sylvia Nagginda mu bubaka bwe, alaze okunyolwa olw’okuviibwako omuweereza ono gw’agambye nti abadde muwulize nnyo ate ng’ayagala nnyo omulimu gwe. Nnaabagereka naye asaasidde nnyo abooluganda lwe ne baweereza banne.

Nnaabagereka ne Minisita Coril4

Omuk. John Kitenda, Ssenkulu wa Nkuluze ekitongole ekivunaanyizibwa ku b’eby’okwerinda mu Bwakabaka n’omugenzi mw’abadde aweerereza, amwogeddeko ng’omuntu abadde omuyiiya nga ne wankubadde yatandika akola mu byakwerinda mu Bwakabaka ate mangu nnyo yakuguka mu kuvuga mmotoka ate n’abeera mu tetenkanya ddala n’abaako enkulaakulana gye yeetusaako n’ab’omu maka ge.

Abakulu mu by’okwerinda ababadde batwala Cpl. Mulyanga okuli Col. Edward Herbert Tahunga ne Capt. Christopher Lutwama batenderezza obwesigwa n’obuwulize ebibadde byeyolekera mu mugenzi, era bakubirizza n’abantu bulijjo okufaangayo okwekebeza emibiri gyabwe newankubadde tebawulira bulwadde.

Omugenzi wakuziikibwa enkya ku kyalo Kanywa, Naluzaali e Masaka mu Buddu.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!