
Obuganda buguddemu ekikangwabwa oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okufa kw’omukulu w’ekika ky’Emmamba, Gabunga Mubiru Ziikwa owa 37.
Okusinziira ku nsonda enneekusifu, Gabunga yafiiridde mu ddwaliro e Lubaga mu kiro ekikeesezza ku Ssande ku ssaawa nnya.
N’okutuusa essaawa eno, omubiri gw’omugenzi gukyali mu ggwanika ly’eddwaliro lino ng’abakulu mu kika bwe bakwatagana n’Obwakabaka bwa Buganda okulaba enteekateeka z’okutereka omubiri gwa Jjajja Gabunga bwe zinaatambula.

Ekika ky’Emmamba kimu kw’ebyo ebikulu mu Buganda nga mu lubiri ab’Emmamba be bakulira eggye lya Kabaka ery’oku mazzi eriyitibwa ery’e Mpingu.
Omutaka Mulindwa Luyombo Kagenda ye Katikkiro w’ekika ky’Emmamba.
Ku mulembe gwa Gabunga Mubiru Ziikwa kati omubuze, ng’agendera ku nteekateeka y’obwakabaka ey’omulembe Omutebi, yadibya enkola eya bazzukulu be abeddira Emmamba okufumbiriganwa era kino abadde akivumirira.
