Pr. James Nsimbe kati omugenzi.

Kitalo! Omusumba W’Abalokole Puleesa Emukubye N’afa!!!

2 minutes, 28 seconds Read

Ab’enzikiriza y’Abalokole mu ggwanga baguddemu encukwe ey’amaanyi oluvannyuma lwa musumba munnaabwe Pr. James Nsimbe ow’ekkanisa ya God is Able Church e Nama -Kasokoso mu disitulikiti y’e Mukono okufa ekibwatukira.

Okusinziira ku Ssebuggwawo George William, muganda w’omugenzi, agamba nti mu kiro ekya keesezza ku Lwokutaano, omugenzi yaddusiddwa mu ddwaliro e Mukono nga biwala ttaka ng’eno gye baakabatemedde nti yabadde akubiddwa ppuleesa.

Olw’embeera embi gye yabaddemu, Ssebuggwawo agamba nti abasawo ku ddwaliro baaboongeddeyo mu ddwaliro ekkulu e Mulago ng’eno gy’assirizza ogw’enkomerero mu kiro ekikeesezza olwa leero ssaawa musanvu.

Shock as Uganda’s Referee Collapses, Dies while Officiating SC Villa vs UPDF Match

“Byatumazeeko ebyewungula. Mukwano gwaffe ppuleesa yagaanye okukka okutuuka lw’assizza ogw’enkomerero…” bw’annyonnyodde.

Bp. Isaaya Mbuga ow’ekkanisa ya Christ’s Heart e Mukono agamba nti omibiri gwa Kristo guviiriddwako Omusumba abadde ow’enjawulo era atazzikawo olw’okubeera nga abadde abuulira ekigambo kya Katonda mu mazima awatali kwekkiriranya.

Mbuga asabye basumba banne okubaako bye bayigira ku Pr. Nsimbe bwe banaaba ba kwongera okusitula enzikiriza y’Abalokole mu ggwanga.

Ate ye Bp. Moses Luzinda Najjukiranga nga y’omu ku babadde mikwano gy’omugenzi agamba nti omugenzi yabakubye entiisa kubanga abadde ayagala nnyo abantu nga mukama abadde yamuwa ekisa eky’okugatta abantu.

Luzinda agamba nti Musumba Nsimbe abadde mugabi nnyo era nti ng’Abasumba bamufiiriddwa nnyo. Ategeezezza nti ebbanga ly’amulabiddeko abadde ayagala nnyo Katonda era abadde yeewala nnyo ebintu ebikosa omuntu omulala.

Ono ayongerako nti omugenzi abadde tayagala ntalo era afubye nnyo okugatta ffamire ye ne wankubadde nga wabaddewo ebikyagaanye.

“Mu bulamu bwange sisinkanangako muntu alina mutima gwa Bwakatonda nga munnaffe ono Nsimbe atuvudde ku maaso. Olaba yasobola okuwaayo ettaka lye ne kuzimbibwako ekkanisa z’Abalokole bbiri nnamba!” bw’annyonnyodde.

James Nsimbe abadde mutabani w’omugenzi Yekoyasi Nkalubo eyali omusuubuzi  ow’amaanyi mu Nama nga yayambako nnyo gavumenti  eriko mu lutalo olwagireeta mu buyinza mu mu myaka gy’e 80. Eby’embi, nti kitaawe Nkalubo amangu ddala ng’olutalo lwakaggwa mu mwaka gwa 1986 yabula era ab’engada ze tebaafuna Mukisa kumuziikako kyokka Nsimbe naye w’afiiridde nga ffamire etambudde kyenkana bwoya kubaggwa ku ntumbwe nga baagala okusisinkana omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni era ssentebe w’ekibiina kya NRM okubayambako ku by’obugagga by’omugenzi bye yaleka ebyawambibwa abatamanya ngamba naye nga buteerere.

NUP’s Bobi Wine Feeds Starving Makerere University Gov’t Sponsored Students

Nsimbe abadde wa njawulo okusinziira ku booluganda nga yasomera ddala abadde ne ddiguli ssatu nga yakuguka mu bya ‘engineering’ yawangaalirirako mu ggwanga lya South Africa okumala ebbanga ng’eyo gye yava n’atandika obuweereza ku kyalo Kasokoso-Nama nga era ekyalo kino yeyakitandikawo.

Mu mbeera eno, aba ffamire basabye disitulikiti y’e Mukono Nsimbe okumubbulamu oluguudo ng’akabonero ak’okumusiima n’okumujjukirirangako olw’ebirungi by’akoledde ekitundu n’eggwanga lye okutwalira awamu.

Olunaku lwa leero, wategekeddwawo okusaba okw’enjawulo ku kannisa ya God’s Able Nama, enkeera nga 3/10/2024 waakutwalibwe ku kyalo Nnaakulabye-Ssekamuli, Bamunanika mu disitulikiti y’e Luweero okugalamizibwa mu nnyumba ye ey’olubeerera ku ssaawa munaana.

Goons Brutally Assault Mukono Diocesan Communications Officer, Vlogger

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!