Abakozi mu ffakitole ekola empapula eya Sena era amanyiddwa nga Ever Package Uganda Limited baaguddemu encukwe bannaabwe basatu bwe baafunidde obubenje ku mulimu okukkakana ng’omu ku bbo ekyuma kimutemyeko omutwe.
Gerald Wasswa Mukisa (18) abadde yaakafuna ebyava mu bigezo bya S4 eby’omwaka oguwedde nga kati abadde akola nga bw’akungaanya ensimbi ez’okuddayo okusoma mu S5 ekyuma ekisala empapula gwe kyasazeeko omutwe.
Okusinziira ku bakozi mu ffakitole eno esangibwa mu ggombolola y’e Nama e Mukono, era waliwo bannaabwe abalala babiri abaalumiziddwa eby’ensusso nga bano Abachina baabaddusizza mu ddwaliro e Mulago ng’embeera yaabwe mbi nnyo.
Bazadde ba Mukisa okuli maamawe Annet Nakachwa baalaze obutali bumativu olwa kkampuni okubategeeza nga bwe yabadde egenda okubawa ensimbi obukadde buna okukola ku by’okuziika era nga ze z’okuliyirira olw’obulamu bw’omugenzi.
Bano beezoobye n’Abachina abakulira kkampuni eno ku Lwokusatu lwonna era obudde ne buziba nga tebakkaanyizza, wabula leero ku Lwokuna ku makya, bano batuuse ku kukkaanya aba kkampuni bwe babawadde obukadde bw’ensimbi mukaaga era ne babasuubiza okuddayo bateese ku ky’okuliyirira ffamire olw’obulamu bwa Mukisa obwagenze mu ngeri ey’obulagajjavu.
Kigambibwa nti abakozi mu kkampuni eno tebaweebwa bibayambako kuziyiza bubenje ekiteeka ennyo obulamu bwabwe ku matigga.
Abakulembeze nga bakulembeddwa kkansala Samuel Odongo balaze okunyolwa olw’abakozi abangi abazze bafiira mu ffakitole ez’enjawulo n’abamu ne basalibwako ebitundu by’emibiri gyabwe kyokka nga bano oba ab’oluganda lwabwe bwe beekubira enduulu mu woofiisi y’atwala ensonga z’abakozi e Mukono tebafuna buyambi.