
Ng’akyagenda mu maaso n’okubendabenda n’ebirwadde ebitwalidde ddala ebbanga nga bimugoya okutuusa n’okumutwala e Nairobi okufuna obujjanjabi obw’ekikugu enfunda eziwera, ate Omubaka wa Palamenti omukyala owa Kampala, Shamim Malende n’aba ffamire ye baguddemu encukwe oluvannyuma lw’okufiibwako kitaawe.
Jamal Ahmed Sebuta Malende yavudde mu bulamu bw’ensi eno mu kiro ekikeesezza olwa leero. Omubaka Malende obubaka obubika kitaawe abuyisizza ku mikutu gi mugatta bantu ku makya ga leero.
-
Shamim Malende ne taatawe Ahmed Malende.
“Lost my bilological father JAMAL AHMED SEBUTA MALENDE. Inna lilaahi wa-inna ilaihi raajuun,”
Kigambibwa nti Shamim Malende obuzibu bw’obulwadde naye obwagala okumulesa emmere yabufuna oluvannyuma lw’okukubibwa ab’eby’okwerinda abagambibwa okuba eb’ekitongole kya SFC bwe baalumba palamenti ababaka bwe baali bayisa etteeka ly’emmanyi.
Ne gye buli eno, ono obulamu tebuddanga ngulu. Enfunda eziwera, taata wa Malende abadde alabibwa naddala mu bifaananyi ng’amugumya ng’omuzadde n’okumusabirako okusobola okuvvuunuka olusozi olumuli mu maaso, era ng’omuzadde ayagala era alumirirwa omwanawe. Kitalo nnyo kitalo ddala.