BYA TONNY EVANS NGABO
Klezia eri ku kaweefube wa kunoonya obuwumbi bw’ensimbi za Uganda butaano n’ekitundu okumaliriza omulimu gw’okuzimba essomero lya Namagunga Boarding and Primary School ettabi ly’e Kitende mu disitulikiti y’e Wakiso.
Mu kutongoza omulimu guno e Kitende ku Ssande, Sr. Mary Assumpta Babirye omukulu w’essomero yagambye nti oluvannyuma lw’okuwummula ng’omukulu w’essomero li nnansangwa erya St. Theresa Namagunga Primary Boarding School erisangibwa mu disitulikiti y’e Mukono, erisomesa omwana omuwala omulamba ku nnono n’omusingi gwa Klezia, yafuna okwolesebwa okwongerayo omulimu guno ne mu kitundu ky’eggwanga ekirala y’ensonga lwaki yagenda e Kitende n’atandikawo ettabi eddala.
“Oluvannyuma lw’obuweereza bwa myaka 20 e Mukono mu St. Theresa Namagunga Primary Boarding School ng’omukulu w’essomero, ku lw’ekibiina kya Little Sisters of St. Francis, twekebakkeba eddimu ate ery’okutandikawo ettabi eddala e Kitende, ndi musanyufu nti ate nalyo lyasimbulira mu maanyi,” Sr. Babirye bwe yategeezezza.
Yagambye nti omulimu guno gulimu okuzimba ebizimbe bya kkalina bibiri ebigenda okukola ng’ebisulo by’abayizi n’ebibiina, nga kino kiruubiriddwamu okuteekateeka ekifo abayizi we banaasomera ekiri mu mbeera ennungi era eky’omulembe.
“Ekirooto kyaffe kirimu okuzimba ekizimbe ekinabeera n’emigaso egiwera omuli okubeerako ebibiina, woofiisi n’ebifo ebirala eby’omugaso nga bwe birambuluddwa mu katabo kaffe ak’essomero. Omulimu guno guluubiriddwa okumalawo ensimbi obuwumbi butaano n’ekitundu,” bwe yalambuludde.
Yagasseeko nti ku ntandikwa y’essomero lino mu 2023, baatandika n’abayizi 270, wabula ng’ennamba egenze ekula okutuuka ku muwendo gw’abayizi 425 omwaka guno.
Sr. Ritah Christine Nakitende nga ye Nnankulu w’ekibiina kya ba Little Sisters of St. Francis e Nkokonjeru yagambye nti omulimu Sr. Babirye gw’akulembeddemu mukulu nnyo ogutuzzaayo okwefumiitiriza ku buweereza bwa Mother Mary Kevin Kearney eyaluubirira okutumbula ekifaananyi ky’omwana omuwala ng’ayita mu kuzimba amasomero ga nnansangwa omu St. Theresa Namagunga Primary Boarding School, Mt. St. Mary’s College Namagunga, Stella Maris Nsuube n’amalala.

“Mother Kevin bwe yajja mu Uganda mu 1903, essira yaliteeka ku kuyimusa okukkiriza ng’ayita mu by’obulamu ng’azimba amalwaliro, ssaako eby’enjigiriza ng’azimba amasomero. Wadde mu biseera ebyo essira ku kusoma lyateekebwanga ku mwana mulenzi, ye yakola eky’enjawulo n’azimba amasomero g’abaana abawala agakutte omumuli n’okutuusa olwaleero,” bwe yannyonnyodde.
Ye omubaka wa Paapa eyawummula, Ssaabasumba Augustine Kasujja asiimye emirimu emirungi egyakolebwa Maama Keviina ate n’ababiikira aba Little Sisters of St. Francis abatutte mu maaso omulimu gwe.
Wabula ku lwa gavumenti, Minisita omubeezi ow’eby’enjigiriza ebya waggulu, John Chrysostom Muyingo yawadde obweyamu nti bagenda kudduukirira omulimu guno n’okuyamba amasomero ga nnansangwa okukola nga St. Theresa Boarding Girls Primary School Namagunga okuggulawo amatabi mu bitundu ebirala kiyambe obuweereza obulungi bwe gakola okwongera okusasaana.
Okwogera, bino, Minisita Muyingo yabadde akiikiridde mukyala w’omukulembeze w’eggwanga Janet Kataha Museveni ng’ono ye Minisita w’eby’enjigiriza mu ggwanga.
Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso Dr Matia Lwanga Bwanika naye yasinzidde wano n’alabula abatandisi b’essomero lino n’abalala abalina amasomero g’obwannanyini okubeera abeegendereza ku bafere abeefuula abakozi ba gavumenti ne basaba ensimbi wamu n’okubatiisatiisa mu ngeri ez’enjawulo.
Bwanika era yategeezezza nga disitulikiti bw’egenda okuyambako ku ssomero lino obutasasula misolo gya ppulaani y’ebizimbe bino ebigenda okuzimbibwa.