Livingston Kizza Lugonvu nga mutabani w’omugagga Wilson Mukiibi Muzzanganda essanyu alina lya mwoki wa gonja oluvannyuma lw’okuyitira waggulu ebigezo bya S.4.
Lugonvu ng’abadde asomera ku ssomero lya Uganda Martyr’s e Namugongo yafunye obubonero 8 n’aleka omugagga Muzzanganda nga musanyufu bya nsusso.
Ono ng’ebibuuzo we byafulumidde y’abadde ali ku ssomero lya taatawe erya Muzza High School e Kabembe Mukono ng’akola gwa kuzimba kitaawe olwafunye amawulire g’okuyita ebigezo n’amuyiwamu kavu wa bukadde bwa nsimbi busatu atandikire awo.
Lugonvu aluubirira kusoma kufuuka ddokita olwo ffamire ya Muzzanganda ku bakugu abagibaddemu ayongeremu n’omudokita.
Muzzanganda gyebuvuddeko ng’ayingira agamu ku maka ge agasangibwa e Nassuuti mu kibuga Mukono yategeeza nti ekimu ku bye yeebaliza Katonda bwe busobozi bw’okuweerera abaana Katonda b’amuwadde ng’agamba nti ddiguli mu nnyumba bw’abalaabala zisoba ne mu 10 nga za baana.
“Abaana b’abagagga tebatera kusoma, wabula nze nneebaza Katonda nti abange basomye,” bwe yategeeza.