
Omuntu bw’akula afuna emize, naye n’omuyimbi Stecia Mayanja alina emize gy’atandise egibadde tegitera kulabikalabika.
Bulijjo ng’abayimbi bayimba, batera okusaba ku ccupa z’amazzi ne banywako anti ng’emimiro gibakaze, wabula ye Stecia, abawagizi baamwewuunyizza nga mu kifo ky’amazzi asaba ka caayi.

Ka caayi kano bakira kalabika nga kookya bya nsusso, olw’engeri obwedda gy’akasikamu. Wabula ono yeetondedde abawagizi nti okunywa ka caayi ku siteegi si malala oba kubagyoga na kubayisaamu maaso era nabo ne batafaayo nnyo.
Abamu ku bawagizi baawuliddwa nga beebuuza oba nga ke ka caayi k’enjaaye ke baayimbako, anti n’amaanyi bakira g’akozesa nga takoowa gaalese abamu bagamba nti gandiba ng’obwedda gava my ka caayi kano.
Stecia yabadde ku Bredo Hotel e Mukono ku Lwomukaaga June 14, 2025 ng’abantu baamuwagidde mu bungi ddala.