Abafumbo Nnaalongo ne Nnaalongo Luzze nga bakwasibwa ceeke y'ensimbi obukadde 10 Nnaabagereka ze yabawadde.

Nnaabagereka Adduukiridde Abafumbo N’obukadde 10

1 minute, 59 seconds Read

“Nnaabagereka bwe yalaba ng’ababiri bano bakozesezza okumanya kwabwe okuyamba abantu ku kyalo ne mu Ssaza Ssingo, kyamuwa essuubi nti bw’abongeramu amaanyi kyakuyamba abantu abalala okusitula embeera zaabwe nga balabira ku Ssaalongo ne Nnalongo Tom Luzze ne Joan Nnaabagesera,” Mukiibi bw’agambye.

Fresh Charges Slapped On Agasirwe, Investigated Over Murder of Kaweesi, Muslim Sheikhs

Nnaabagereka wa Buganda, Sylvia Nagginda awadde Ssalongo ne Nnalongo Tom Luzze obukadde 10 bongere mu mirimu gyabwe egy’okulima n’okulunda.

Obweyamo buno Nnaabagereka yabukolera mu Ssaza Ssingo ku mukolo gw’olunaku lw’Abakyala mu Buganda nga 30 Kafuumuulampawu 2025 ogwali ku St. Beatrice SSS e Kyankwanzi.

Nnaabagereka yakyala mu maka g’ababiri bano ku kyalo Kabutemba e Kiboga, bwe yali alambula emirimu egikolebwa abakyala n’Abaami okweyimirizaawo mu nkola y’Amaka amalungi mu kaalo amatendo.

Ssaalongo ne Nnaalongo Luzze.

Nnalongo Joan Nnaabagesera ne Ssalongo Tom Luzze, balunzi ba bisolo okuli enkoko, Ente, n’ebirala ssaako okulima ebintu eby’enjawulo bye bongerako omutindo nga bakozesa ebintu bya bulijjo ebibeetoolodde ne bafunamu kingi.

Ssaalongo Luzze aweesa obuuma ye ne Nnalongo bwe bakozesa okwongera omutindo ku bye bakola.

Bano baakola Mutima Poultry farm mwe bayitira okutunda ebintu byabwe omuli emmere y’enkoko, amagi, ebigimusa, n’enkoko ez’okulunda.

Ssente zino zibakwasiddwa Ssenkulu wa Nnaabagereka Development Foundation, Omuk. Andrew Adrian Mukiibi, Nankya Ann Elizabeth, n’Omukwanaganya w’Ekikula ky’Abantu era omumyuka w’omuwandiisi w’enkalakkalira, Omuk. Peter Zaake Ssebayigga, ku mukolo ogubadde ku Bulange enkya ya leero.

Ng’awaayo ensimbi zino, Adrian Mukiibi agambye nti ensonga lwaki Nnaabagereka yasalawo okukwatirako Ssalongo ne Nnalongo Luzze kwe kuba nti bannyikidde nnyo mu kukola ebintu ebiva mu bulimi, bakozesa ebintu ebibeetoolodde okuliisa n’okulabirira ebisolo awaka.

Sad! Africa’s Celebrated Novelist Ngugi wa Thiong’o Signs Out

“Nnaabagereka bwe yalaba ng’ababiri bano bakozesezza okumanya kwabwe okuyamba abantu ku kyalo ne mu Ssaza Ssingo, kyamuwa essuubi nti bw’abongeramu amaanyi kyakuyamba abantu abalala okusitula embeera zaabwe nga balabira ku Ssaalongo ne Nnalongo Tom Luzze ne Joan Nnaabagesera,” Mukiibi bw’agambye.

Ssaalongo Luzze ne Nnalongo Joan Nnaabagesera, beebazizza Nnaabagereka olw’obuwagizi buno ne bategeeza nti baakukozesa ensimbi z’abawadde okwongera ku bungi bw’ebintu bye bafulumya ssaako n’okusiba bbuggwe w’akatimba okwetoloola amaka gaabwe okutangira ebisolo by’omunsiko ebibalyako enkoko n’ebisolo bye balunda.

Peter Zzaake Ssebayigga, Omukwanaganya w’Ensonga z’ekikula ky’Abantu era omumyuka w’omuwandiisi w’enkalakkalira, ku lwa minisitule agambye nti amaanyi Nnaabagereka g’awadde Ssaalongo ne Nnalongo gagenda kuzimbulukusa emirimu gyabwe nga mwotwalidde n’abaana baabwe be baakwasa omulimu gw’okulunda ente zisobole okulabika obulungi, wabula nga ensonga y’obumu eriwo mu maka gano nayo yasanyusa nnyo Nnaabagereka.

Olunaku lw’abakyala lwatambulira ku mulamwa, “Okwongera amaanyi mu mirimu gy’Abakyala ku lw’enkulaakulana eya nnamaddala”.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!