Okunaawuza entalo mu bakulembeze b’Africa kitattanye enkulaakulana

1 minute, 8 seconds Read

Bya Tony Evans Ngabo

Omukungu okuva mu kitongole ki Advocates Coalition for Development and Environment (ACODE) ekivunanyizibwa ku kulondoola wamu n’okutumbula enkola n’enfuga ennungi  mu bakozi ba gavumenti wamu n’ebitongole eby’enjawulo  Prof. Auther Bainomugisha, asabye abakulembeze ku ssemazinga wa Africa okuva mu kunawuuzanga entalo ezitadde ensi zaabwe mu matigga.

Bainomugisha ng’era musomesa ku Kyambogo University yategeezezza nti entalo ekika kino tezirina kye ziyamba bannansi wabula okuteeka obulamu bwabwe mu matigga n’okudobonkanya eby’enfuna by’ensi zaabwe.

Ono abasabye baddeyo buto okuzimba Africa nga bayita mu kutumbula omutindo gw’eby’enjigiriza  ebinayamba Africa okusituka mu by’enfuna n’enkulaakulana y’abantu.

Prof. Bainomugisha okutuuka ku bino abadde ku ssomero lya Cornerstone Primary School Buwaate mu Kira Municipality, mu kuggalawo olusoma lw’omwaka guno wamu n’abayizi okwolesa ebitone ebitali bimu n’akkaatiriza nti abakulembeze bandibadde bafuna eky’okuyiga nti emmundu terina ky’eyambye bannansi wabula kye kiseera abakulembeze  okulowooze ku bisera bya Africa eby’omumaaso.

Agambye nti ekiseera kituuse ssemazinga wa Africa okutandika okwetegerera basobole okulwanyisa obusosoze , abantu okugwamu essuubi wamu n’obwavu  obuzingamizza amawanga ga Africa ekigenze ewala.

Ssentebe wa district ye Wakiso, Dr. Matia Lwanga Bwanika atabukidde abakulira eby’enjigiriza mu ggwanga abasuuliridde ensonga y’eddiini nga emu ku mpagi enkulu mu kubangula abaana b’eggwanga.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!