Okwabya Ennyimbe Mpisa ya Buganda Tekuliimu Ssitaani-Katikkiro

0 minutes, 45 seconds Read
Katikkiro Charles Peter Mayiga ng’ayogera.

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akunze abantu mu Buganda okunnyikiza empisa y’okwabya ennyimbe n’okugoberera obulombolombo obugendera ku mukolo ogwo.

Kamalabyonna agamba nti okwabya olumbe mukolo muzzaŋŋanda era gwa ssanyu kubanga guyamba abantu okuddamu okusisinkana, okumanyagana n’okwezza obuggya oluvannyuma lw’okuviibwako omuntu waabwe.

Omukolo gw’okuteekako omusika nga gugenda mu maaso.

Mukuumaddamula era avumiridde eky’abantu obazze badibya empisa eno nga bagiyita eya sitaani, n’agamba nti abantu balina kwongera kusomesebwa okumanya obukulu bw’okwabya ennyimbe.

Okwogera bino, Katikkiro abadde yeetabye ku mukolo gw’okwabya olumbe lw’omugenzi Kandula Kabonge Emmanuel ng’ono muganda wa munywanyi we Francis Buwuule bwe baatandika kkampuni y’amateeka eya Buwuule and Mayiga Advocates.

Omugenzi asikiziddwa mutabani we Kabonge Lucky Darius era ng’okusumika kukulembeddwamu Omw. Kanyike Henry Gordon Omuwandiisi ku Mutuba gwa Kabonge e Nakawuka.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!