Aba ffamire n'abakulembeze b'eddiini mu lukiiko mwe baagobedde Tomusange.

Omusika Eyezza N’okutunda Ebintu bya Ffamire Bamugobye ku Busika

2 minutes, 36 seconds Read

Bya Abu Batuusa

Ab’oluganda beekyaye ne bagoba omusika eyasikira kitaabwe ku busika lwa kutunda bya bugagga bye baabalekera n’okumenyawo ennyumba kitaabwe gye yalekawo ng’amaka ag’okukungaaniramu.

Bano baawandise ekiwandiiko ne kisomebwa mu lukiiko olwakubiriziddwa ssentebe w’ekyalo. Bino byabadde ku kyalo Tula-Kawempe mu munisipaali y’e Nansana.

Gwe babisibidde ku nnyindo ne bamutwala n’ekisubi ku liiso okuva ku busika ye Swaleh Tomusange ng’ono y’abadde omusika w’omugenzi Hajji Hamudani Kikubire eyaleka ebintu okuli n’amayumba.

Kigambibwa nti Tomusange yeekobaana ne mutabaniwe Asuman Tomusange ne babitunda okubimalawo.

Abaana abagobye omusika waabwe Tomusange kubaddeko Muhammad Lumala, Ibrahim Kikubira, Aisha Nanjovu, Musa Nkalubo gattako n’omuzzukulu Jamiru Ssenkumba n’abalala nga bano bawandiise ekiwandiiko ekiggyamu omusika obwesige ku bukulu obw’obusika.

Olukiiko lwe baagobeddemu omusika lwakubiriziddwa ssentebe w’ekyalo Ttula-Kawempe Joseph Ssenkima era nga y’atandise n’okubuuza Tomusange lwaki yamenyawo ennyumba ya bakaddebe era wakati mu lukiiko Tomusange yasituse okwogera naye ng’ayogera bw’adaalimba ekya nyiizizza ssentebe.

Oluvanyuma abaana baakwasizza ssentebe ekiwandiiko kye baawandiise bona kye baataddeko emikono nga kiraga nga bwe baabadde bakkaanyizza okugoba Tomusange ku busika.

Ennyumba omusika Tomusange gye yakoonyekoonye.

Ssentebe ekiwandiiko yakikwasizza Sheikh Muhammed Ngoobi okukisomera abantu naye nga tanatandika kukisoma, ssentebe yasoose kulaga baana bonna oba amannya agali ku kiwandiiko ge gaabwe gennyini era nti kino baabadde bakimanyi era nga baakikoze nga tebakakiddwa wabula nga beesaliddewo bbo bennyini. Bano bakkirizza era ensonga ne zigenda mu maaso.

Sheikh Ngoobi yasomye ekiwandiiko nga kyogera ku kalonda mungi omuli omusika Tomusange okwekobaana ne mutabaniwe Asuman Tomusange ne bezza ebintu bya kitaabwe byonna nga kwotadde n’okumenya ennyumba ey’ekika abaana bonna we bakunganira ssaako n’okusomerangawo dduwa.

Era ekiwandiiko kye kimu ekyaggye Tomusange ku busika kyamulagidde okukomyawo ebintu bya ffamire bye yatunda nga kigambibwa nti yabitunda mu bukyamu kuba teyalina buyinza.

Bano era baagala Tomusange addemu azimbe ennyumba yaabwe ey’awaka eya ffamire, ennyumba mutabaniwe ze yawamba zimuggyibweko zidde mu mikono gy’abaana b’omugenzi era zigamibwe mu bwenkanya.

Wano omusika Tomusange ne mutabaniwe Tomusange Asuman bagezezzaako okwewozaako naye nga balinga abasiwa ensaano ku mazzi era tekyabayambye kubanga byonna baabikolanga tebeebuuzizza ku ba nganda zaabwe.

Bagamba nti buli lwe baagezangako okumukomako ng’abasinka bagende mu kkooti bamuwawaabire nga kino kye kyabatanudde bamuggyeko obusika obubadde bumuwaga okweyisa ng’eky’okuttale.

Olukiiko luno lwetabiddwamu bannaddiini okuli Sheikh Saidi Kisawuli n’abalala, abataka b’ekitundu n’abakulembeze abakuliddwamu ssentebe Joseph Ssenkima. Lwatuuziddwa mu maka g’omugenzi Hajji Hamudani Kikubire awamenyebwa ennyumba ya ffamire era abantu baalabiddwako nga baali mu nnyiike olw’ennyumba eno eyamenyebwawo nga yali ebagatta nga mwe bakungaanira.

Aba ffamire boogedde mu lukiiko nga muganda waabwe ono bw’abadde abayisa obubi kyoka nga taata waabwe yali yalonda muganda waabwe Abdu Kaggwa naye n’ava mu bulamu bw’ensi kwe kusalawo basikize Tomusange naye abafuukidde akayinja mu ngato era ekibanyiizizza okumugoba ku busika kweku. Bagamba nti okusalawo okumenyawo ennyumba ya ffamire yasoose kufuna lugambo nga bwe baabadde bagenda okumugoba ku busika.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!