Ssaabasumba Asabye Bannayuganda Okudduukirira Abafiiriddwa Abaabwe e Kiteezi

0 minutes, 46 seconds Read

BYA TONNY EVANS NGABO

NAMUGONGO | KYAGGWE TV | Ssaabasumba w’essaza lya Klezia ekkulu ery’e Kampala, Paul Ssemogere asaasidde abantu abaafiiriddwa abantu baabwe kasisiro w’e Kiteezi be yabuutikidde ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde ate ne bafa n’ebintu ebiwerera ddala ne bitokomoka.

Ssaabasumba okwogera bino yasinzidde mu kitambiro kya mmissa ekyabaddemu okukuza olunaku lw’abaana Bannakizito mu ssaza ekkulu ery’e Kampala ku kiggwa ky’Abajulizi e Namugogo. Yasabye Bannayuganda abalina obusobozi okuvaayo okuyambako abantu abafiiriddwako abaabwe wamu n’abakoseddwa mu njega eno.

Mu ngeri y’emu ono yakuutidde Bannakizito okwewaayo nga bagoberera  ennono za Klezia Katulika nga omuwolereza waabwe Kizito Omuto bwe yakola .

Nankya Emilly nga ye Ssaabakrisitu wa Bannakizito Association yasabye Ssaabasumba okutongoza olunaku luno lukuzibwenga buli mwaka abaana nabo basobole okufunanga omukisa okulamaga ku kiggwa ky’Abajulizi e Namugogo ewatali ndindikagano.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!