
Minisita w’eby’enjigiriza omubeezi ow’amatendekero aga waggulu, Dr John Chrysostom Muyingo akakasiza nga gavumenti bw’etagenda kuttira ku liiso mukulu wa ssomero yenna anagaana okugoberera ebiragira ebipya ebyayisiddwa minisitule omuli okugaana abayizi okukozesa ensimbi mu kuwenja obululu mu bayizi bannqabwe, okutegeka engendo z’abayizi ebweru w’eggwanga ez’ebbeeyi, okutegeka ebivvulu by’abayimbi mu masomero n’ebirala.
Minisita yakakasizza nga gavumenti bw’egenda okukwata abo bonna abanaajeemera ebiragiro bino bakangavvulwe omuli n’okusazaamu layisinsi ezibakkiriza okuddukanya amasomero.

Okulabula kuno, Muyingo yakukoledde Namugongo ku kiggwa ky’abajulizi Abakatoliki mu kulamaga kw’abaana b’amassomero nga May 30, gye yasinzidde n’asaba abazadde nabo okubayambako baloope amasomero aganaaba gaganye okuteekesa mu nkola ebiragiro bino eri gavumenti.
Mu ngeri y’emu, Minisita era yagambye nti bbo ng’abakulira eby’enjigiriza kibaluma okulaba nga ne mu kiseera kino wakyaliwo abaana abatasobola kugenda ku masomero wadde nga gavumenti ezimbye abasomero omuli aga pulayimale ne ssekendule aga bonna basome ng’abazadde balina kugulira baana baabwe bitabo, kkalaamu na kyamisana nga basoma.
Bwe yabadde akulembeddemu ekitambiro kya mmisa, Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Paul Ssemwogerere yakubirizza ba musaayi muto okusaba awatali kwesaasira.
Ate bbo abamu ku bakulu b’amassomero nga akulembeddwamu Joseph Kamya, omukulu w’essomero lya St. Cyprian High School e Kyabakadde yagambye nti okulamaga kw’abayizi kuyambye nnyo abaana baabwe okuteegeerera ddala ebyafaayo by’abajulizi bye babadde bakoma okusomako obusomi mu bitabo.