Ssentebe Bwanika n'eyali omubaka wa palamenti, Ssempala Kigozi Ssajjalyabeene.

Ssentebe wa Disitulikiti Akangudde ku Ddoboozi Eri Abazadde Abatayagala Kuweerera Baana

Omubaka Naluyima, ssentebe Bwanika n’eyali omubaka SSajjalyabeene mu kifaananyi eky’awamu n’abaana b’essomero.

Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr. Matia Lwanga Bwanika akangudde ku ddoboozi n’ayambalira abazadde abawangaalira ku bizinga ne ku myalo olw’okwesuulirangayo ogwa nnaggamba ku nsonga y’okuwerera abaana bbo bennyini be beezaalira nga bwe bawooza kimu nti gavumenti yabagoba ku nnyanja.

Bwanika yasinzidde ku ssomero lya World’s Light Junior School e Bwerenga mu ttawuni kkanso y’e Katabi mu ntegeeka ya Naffe Tusome eyatandikibwawo omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Wakiso Betty Ethel Naluyima n’agamba nti kya bulimba abazadde ensonga y’okuweerera abaana okugisa ku magye agabatulugunya buli kaseera.

Munna NUP Bakaluba, Ssentebe W’e Mukono Agobye Abadde Omumyukawe Owa NRM Muwummuza

Omubaka Naluyima ng’agabira abawala pad.

Ssentebe yagambye nti abazadde mu bizinga guno muze gwabwe gwa lulango nga ne mu biseera we baanogerang’ensimbi era ebizibu by’obutasomesa baana byabeerangawo.

Bwanika mu ngeri y’emu yalabudde Bannayuganda nti eky’okuweerera abaana baabwe bwe bataakirabe mu ngeri nnungi era ne bakikola nga teri na kulinda kukakibwa, bandyekanga nga bakulembeddwa abantu abava mu bitundu eby’enjawulo bbo abafuddeyo ennyo ku ky’okuweerera abaana.

Kyagulanyi Accuses Security Forces of Planting Camera, Tracking Devices in NUP Office After Raid

Ebimu ku bitabo ebyagabiddwa eri abayizi.

Omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Wakiso, Betty Ethel Naluyima wamu n’eyali omubaka wa Makindye Ssabagabo, Emmanuel Kigozi Ssempala Ssajjalyabeene baategeezezza ng’eggwanga mu kadde kano bwe likyalwanagana n’omulembe gw’abaaana abafuna embuto nga tebanneetuuka nga bwe kityo abazadde tebasaanye mulimu guno kugulekera bakulembeze na basomesa bokka.

Abayizi abasoba mu 400 be baganyuddwa mu nteekateeka ya Naffe Tusome nga baawereddwa ebitabo, emikebe egikozesebwa mu kusoma kiyite ‘geometry set’, pen, sanitary pads, wamu n’abamu okuweebwa zi bbasale nga bagenda kuyambibwako n’ebisale by’essomero.

Omubaka Naluyima ng’ayogera.

Late BMK’s Family Loses 4 Six-Storeyed Buildings Over sh10bn Loan

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!