Bya Abu Batuusa Abaami abaalondebwa Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II okumukulembererako omuluka gwa Lukwanga okusangibwa mu ssaza ly’e Busiro balayiziddwa okutandika emirimu gy’embuga. Mumyuka azze mu mitambo gy’omuluka gw’e Lukanga ye Kato Edward ng’alayiziddwa n’abayambi be b’agenda okukola nabo emirimu. Ssebwana ng’ono y’atwala essaza lya Beene ery’e Busiro, Aloysius Ssemanda ng’ambibwako Mumyuka […]
Bya Tony Evans Ngabo Ng’abazadde mu ggwanga lyonna bali mu keetereekerero ak’okuzza abaana mu masomero agagenda okuggulawo mu butongole olunaku lw’enkya ku Mmande, Omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Busiro, Ssebwana Ying. Charles Kiberu Kisiriiza akangudde ku ddoboozi eri abazadde abatayagala kutuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe obw’okuweerera abaana be bazaala. Ssebwana okusinga anokoddeyo abazadde abawangaalira mu bizinga […]