Kitalo! Abalwadde mu Ddwaliro e Buvuma Bagabana Ebisenge N’emirambo!!!

Dr. Crispus Nkoyoyo, nga y’amyuka akulira eddwaliro lino yannyonnyodde nti nabo ng’abasawo kibakosa okulaba ng’abantu ababa bavudde mu bulamu bw’ensi, tebalina kifo kitongole we bayinza kubatereka. Abatuuze, abakulembeze n’abasawo mu bizinga by’e Buvuma bavuddeyo ne balaga obutali bumativu olwa gavumenti okulemererwa okubazimbira eggwanika ku ddwaliro eddene lyokka lye balina mu disitulikiti erya Buvuma Health Centre […]

Sserunkuuma Eyatta Omukulu W’ekika Ky’Endiga Aziikiddwa mu Nkukutu

Abaganda baagera nti “Ekidiba kidda wa nnyinikyo, essanja mu lusuku”, ne ffamire y’omuvubuka kalibutemu eyeenyigira mu kikolwa eky’okukuba abadde omukulu w’ekika ky’Endiga Lwomwa Ying. Daniel Bbosa amasasi agaamuttirawo, yeevuddemu n’esaba omulambo gwe okuva mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago ne bamutwala ne bamuziika mu nkukutu. Okusinziira ku nsonda enneekusifu mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago, ab’oluganda lwa […]

error: Content is protected !!