RDC w’e Wakiso, Justine Mbabazi alagidde poliisi n’ekwata ‘parish chief’ n’abalala babiri ng’entabwe eva ku kubulankanya sente za PDM. Bano okukwatibwa kiddiridde abatuuze mu muluka gw’e Nakabugo mu ggombolola ya Wakiso-Mumyuka okubalumiriza nga bwe baabawa ssente za PDM ez’ebitundu kyokka ate ne babasaayiningisa ssente ndala ezisinga kw’ezo ze baafuna ekiggye RDC Mbabazi mu mbeera n’alagira […]