Nuliat Nakangu Kyazze Awangudde Empaka Z’obwannulungi ez’essaza Ly’e Kyaggwe

Empaka z’obwannalulungi ezimaze ebbanga nga ziyindira mu ssaza lya Kabaka ery’e Kyaggwe kya ddaaki zikomekkerezeddwa. Abawala ababalagavu 10 be batuuse ku z’akamalirizo ku mukolo oguyindidde ku Bredo Hotel mu kibuga Mukono.  Omumyuka wa Ssekiboobo nnamba bbiri omugole ekyaliko n’omuzigo, Fred Katende y’abadde omugenyi omukulu ku mpaka zino ng’abasazi baazo bayokyezza abavuganyizza ebibuuzo ku nsonga ez’enjawulo […]

Kabaka Asiimye Ssekiboobo Boogere N’amuwa Emmotoka Ng’ekirabo Olw’obuweereza Obulungi

  BYA BRENDA NANZIRI Abadde Ssekiboobo atwala essaza ly’e Kyaggwe, Elijah Boogere Lubanga Mulembya, Ssaabasajja Kabaka gwe yasiimye awummule oluvannyuma lw’emyaka etaano egy’obuweereza awaddeyo woofiisi eri amuddidde mu bigere. Omukolo guno ogubadde ku mbuga y’essaza ly’e Kyaggwe gukoleddwa mu maaso ga Minisita wa gavumenti ez’ebitundu e Mengo Joseph Kawuki n’abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo ku mutendera […]

Ssekiboobo Boogere N’abamyukabe Balagiddwa Okuwaayo Woofiisi ku Mmande

Abadde omwami wa Kabaka ow’essaza ly’e Kyaggwe, Elijah Boogere Lubanga Mulembya oluvannyuma lwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Mutebi II okusiima n’amuwummuza ku bukulu obwo, alagiddwa okweteekateeka aweeyo woofiisi eri Ssekiboobo omuggya, Vincent Matovu. Wadde ng’ebbaluwa eragira abadde Ssekiboobo okwetegeka n’abamyukabe okuli asooka Kato Matovu n’ow’okubiri Kanakulya Luswata teriiko nnaku za mwezi ddi lwe yawandiikiddwa ng’eno era […]

Okugema Yellow Fever e Mukono Kwa Buwaze-RDC Ndisaba

Abatwala eby’okwerinda n’abakulembezze mu disitulikiti y’e Mukono basazeewo okukaka abantu bonna mu kitundu kino okugenda okugemebwa omusajja gw’enkaka (Yellow Fever) okw’ekikungo okutandiise olwa leero mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo. RDC w’e Mukono, Hajjati Fatumah Ndisaba Nabitaka asinzidde mu kutongoza okugema Yellow Fever n’agamba nti wadde Bannayuganda bamanyi okulengezza ezimu ku pulogulaamu za gavumenti, okugema kuno kin […]

Kitalo! Omukiise mu Lukiiko lwa Buganda Dr. Donald Muguluma Afudde!!!

Bannakyaggwe baguddemu ekikangabwa oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okufa kw’abadde omukiise w’essaza ly’e Kyaggwe mu lukiiko lwa Buganda, Dr. Donald Ddamilira Muguluma.  Dr. Muguluma ng’abadde mutuuze mu kibuga ky’e Mukono ku kyalo Nabuti okumpi n’essomero lya Seeta Junior School Mukono abadde musawo omutendeke ng’alina eddwaliro mu paaka e Mukono n’e Bweyogerere. Amawulire g’okufa kwa Dr. Muguluma gaafulumye […]

Ssekiboobo Atuuzizza Omwami wa Kabaka Ow’omuluka gw’e Mpoma

  Omumyuka asooka owa Ssekiboobo David Kato Matovu atuuzizza n’okulayiza Omwami wa Kabaka ow’omuluka gw’e Mpoma II ogusangibwa mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono. Sylvia Kyowa Kyobe y’atuuziddwa wakati mu mukolo ogujjudde essanyu, emizira, engoma n’amazina nga bino bisaanikidde ebyalo okuli Mpoma n’e Kisowera. Omumyuka wa Ssekiboobo nga ye mwami wa Kabaka atwala […]

error: Content is protected !!