Terror Gangsters Threaten to Kill Mukono RDC, DPC and DISO

Several gangsters commonly known as ‘kifeesi’ were on Tuesday arrested in a police operation mounted after residents of Ntaawo cell in Goma Division reported unrest resulting from death threats by the gangsters brought to the village by members of the family of the late Hamu Mukasa to allegedly guard their land from encroachers. According to […]

Abasiraamu Bagabidde Abaliko Obulemu Obugaali Bw’abalema

Abasiraamu ku muzikiti gw’e Ntaawo bagabidde abantu abaliko obulemu obugaali bw’abalema busatu okubayambako ku kizibu ky’entambula. Monica Rwaheeru nga y’asakidde abalema obugaali buno asabye Abasiraamu ne Bannayuganda okwewala okuyisa mu balema amaaso ng’agamba nti bano okufuuka kye bali tebalina musango gwe bazza nti kati bsasula kibonerezo. Bano obugaali bwabakwasiddwa mu kusaala Juma ku muzikiti gwa […]

Gen. Nalweyiso Atikkidde 54 N’abawa N’ebyalaani N’ensimbi Enkalu Ng’entandikwa

Rtd. Lt. Gen. Proscovia Nalweyiso, omuwabuzi wa Pulezidenti mu by’obufuzi afulumizza abayizi 54 abakuguse mu kutunga ebyalaani. Bano bamaze kutendekebwa okukulungudde emyezi mukaaga mu ttendekero lya Nalweyiso Technical Academy nga lino mu kiseera kino lisomesa baana n’abantu abakulu okuli abawala n’abalenzi abava ku kyalo ky’e Ntaawo Gen. Nalweyiso kw’awangaalira. Ng’ayogera mu kutikkira abayizi, Gen. Nalweyiso […]

Ebifaananyi 60 Eby’okulambula kwa Kyagulanyi e Mukono-Abantu Beeyiye mu Bungi e Ntaawo Okumulaga Obuwagizi

Robert Kyagulanyi Ssentamu abasinga gwe bamanyi nga Bobi Wine alaze amaanyi bw’abadde mu kulambula disitulikiti y’e Mukono mu kaweefube w’ekibiina kye ekya National Unity Platform (NUP) gw’aliko ow’okukikungira obuwagizi. Kyagulanyi abadde n’ababaka ba palamenti abawerera ddala abali ku kkaadi ya NUP nga bano babadde banyumye mu kkala z’ekibiina emmyufu ng’abalala bambadde obukofiira obumanyiddwa nga beret, […]

Bannamukono Baweddeyo Okwaniriza Kyagulanyi-Akunze Bannayuganda Obutamelekera Situlago

Bannamukono baweddeyo okwaniriza Pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu abadde mu kutalaaga disitulikti y’e Mukono olunaku lwaleero. Bano Kyagulanyi abasiimye olw’obutamulekerera n’agamba nti kino kye bakoze wakati mu kulemesebwa poliisi ne bataggwamu maanyi kye kiruma Museveni n’okumuteeka ku bunkenke n’atuuka okusula ng’atunula olw’amaanyi g’abantu. Kyagulanyi ategeezezza nti wadde poliisi yagezezzaako okubatataaganya n’ekyusa ebifo mwe babadde […]

Kyagulanyi ali Mukono anoonya buwagizi bwa NUP-poliisi ebakase okukyusa olukungaana mu Njogezi

Pulinsipo w’ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu amakanda agasimbye Mukono olwaleero okutalaaga ebifo eby’enjawulo nga bw’awuubira ku bannakibiina n’okubawa obubaka obw’enjawulo obw’enkyukakyuka. Kyagulanyi olunaku alutandikidde Nakasajja ku luguudo oluva e Kampala okuyita e Gayaza ppaka Kayunga gy’ayaniriziddwa bannakibiina mu bungi olwo n’ayolekera Kalagi gy’agguddewo woofiisi y’ekibiina eya kkonsituwensi ya Mukono North. Ng’ayogera n’ab’amwaulire ku kitebe […]

Katikkiro Awabudde Gavumenti Okuteeka Enkizo ku By’obulimi N’obulunzi

Katikkiro wa Uganda, Charles Peter Mayiga alambudde ebifo eby’enjawulo ewali okunoonyereza n’okugatta omutindo ku birimibwa n’okulunda mu ggwanga wansi w’ekitongole kya National Agricultural Research Organisation (NARO) nga kino kyatta omukago n’Obwakaka bwa Buganda okulaba ng’ebyo ebikolebwa mu bifo bino eby’enjawulo bisaasaanyisibwa mu bantu ba Kabaka okusingira ddala abavubuka mu masaza ag’enjawulo. Mu bifo Katikkiro by’alambudde […]

Gen. Nalweyiso Trains, Equips Women with Technical Skills

Nalweyiso Technical Academy, an initiative of Rtd. Lt. Gen. Proscovia Nalweyiso on Saturday graduated the second cohort of women and girls who have undergone a training of six months in tailoring. The graduation which was presided over by Mukono Resident District Commissioner, Fatuma Ndisaba Nabitaka was held at Lt. Gen. Nalweyiso’s home at Ntaawo in […]

error: Content is protected !!