Abalangira n’Abambejja awamu n’Abasiramu baakunganye mu bungi mu kujjukira abantu abakoleredde ennyo Obusiramu okwali n’Omulangira Nuhu Mbogo ng’ono ye yawaayo n’ettaka okwazimbwa omuzikiti ogumanyidwa ogwa Mbogo e Kawempe. Bano baasoose na kulomba dduwa obwedda ekulemberwa ba maseeka era nga mwetabiddwamu abantu bangi okwabadde bannabyabufuzi, Abalangira, Abambejja, Bassaava ne Bannaava era nga Sheikh Abed Tamusuza ye […]