BYA TONNY EVANS NGABO | MUKONO | KYAGGWE TV | Abavubuka okuva mu magombolola ag’enjawulo mu disitulikiti y’e Mukono babanguddwa ku nkozesa y’emitimbagano ey’omulembe nga beeyambisa amasimu gaabwe. Bano abasobye mu 35 basomeseddwa ekibiina ki Unwanted Witness nga bano basabiddwa okwewala ok ukozesa amasimu gaabwe okuvuma n’okuwebuula abakulembeze, okuwemula n’okwetaba mu bikolwa ebirala eby’obumenyi bw’amateeka […]