Embeera y’omubaka wa palamenti Muhammad Ssegirinya eyongedde okutabuka ekyeraliikirizza ennyo abawagizibe ne Bannayuganda bonna okutwalira awamu. Bano basabye abakulembeze mu kibiina kye ekya NUP ne Palamenti ya Uganda okukola kyonna ekisoboka okulaba nga bayamba ku ffamire ye okusobola okulaba ng’obulamu bwe butaakirizibwa. Ssegirinya ali mu ddwaliro lya Agha Khan e Kenya gy’amaze akaseera ng’ajjanjabibwa ebirwadde […]