Omuyimbi w’ennyimba za ‘band’ era ez’omukwano, Hajjat Stecia Mayanja alangiridde nga bwe yeesozze olwokaano lw’eby’obufuzi. Stecia Mayanja agamba nti ayagala kuvuganya ku kifo kya mubaka wa palamenti eky’omukyala akiikikirira ekibuga Kampala. “Kino si kirooto, bino byaddala,” Stecia bwe yategeezezza ng’ayita ku mukutu ku mugatta bantu ogwa Facebook. Stecia w’aviiriddeyo nga ky’aggye akole ekivvulu ekyasudde n’ennyenje […]