Gen. Katumba ng’ayogera, yategeezezza nti nga jenero, yali wa kufa nga munakuwavu nnyo, oluvannyuma lw’okusimattuka entalo ez’enjawulo ate n’attibwa omutujju ng’amukuba amasasi ku kkubo n’agamba nti waakiri yandifiiridde mu lutalo mu kulwana.
Katumba yasimattuka okuttibwa abazigu abatujju abaali batambulira ku bodaboda e Kisaasi mu Kampala nga June 1 bwe baasindirira emmotoka mwe yali atambulira amasasi okukkakkana nga gasse muwalawe Brenda Nantongo ne ddereeva we Haruna Kayondo, olwo ye yawimattuka n’ebiwundu by’amasasi ku mukono ne mu kifuba. @kyaggwetv1
