Hajji Ssemakula, awangudde obwa ssentebe bwa NRM mu disitulikiti y'e Mukono.

Vvulugu mu Kulonda Kwa NRM e Mukono, Abadde Ssentebe Ssebaggala Adduse mu Kalulu

3 minutes, 56 seconds Read

Ekifo ky’omuwanuka wa NRM nakyo kibaddemu okulya n’okukomba essowaani, oluvannyuma lwa Hajji Umar Ddumba okwekandagga n’ava we balondera ng’okulonda ku kifo kyabwe tekunnatuuka.

Police Chief Nixon Agasirwe Arrested, Linked to Joan Kagezi’s Murder

Hajji Ssebaggala mu kkooti ne T.shirt ya kyenvu nga yeekandagga oluvannyuma lw’okuva mu kulonda.

Okulonda kwa NRM ku bifo eby’enjawulo kwetoboseemu vvulugu ekiviiriddeko n’abamu ku babadde beesimbyewo okudduka mu kalulu ne beekandagga.

Bano bakulembeddwamu abadde ssentebe wa NRM mu disitulikiti y’e Mukono, Hajji Twahir Ssebaggala nga yeekandazze n’ava mu kalulu ekiwadde ekyanya bwe babadde ku mbiranye, Hajji Haruna Ssemakula nga y’abadde omumyukawe okulangirirwa nga tavuganyiziddwa.

Abdul Malik Kiberu (ku kkono) alondeddwa nga ssentebe w’abavubuka ba NRM e Mukono, ku ddyo ye Hakim Ssenfuka.

Na bwe kiti bwe kibadde ne ku kifo ky’omuwanika w’ekibiina, abadde awangadde ku kifo kino, Hajji Umar Ddumba naye bwe yeemuludde n’adduka ne batuuka okulonda ku kifo ky’omuwanika nga taliiwo. Kyokka kino kibadde tekyewuunyisa kuba Hajji Ddumba ne Hajji Ssebaggala balinnya mu kimu era okuvaamu kw’omu kubadde kulina okukosa omulala.

Oluvannyuma lw’okulangirira Hajji Ssemakula, okulonda kugenze mu maaso ng’ekifo ky’omumyuka wa ssentebe kibaddeko abakyesimbyeko nga bawera okuli eyali ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Andrew Ssenyonga, Gashegu Mulimira, eyaliko kkansala wa disitulikiti ng’akiikirira eggombolola y’e Nama Fred Musonge, Hajji Badru Kitaka Kavulu, Davis Lukyamuzi ne Yusuf Awuye.

Hajji Twahir Ssebaggala, ng’ayogera n’ab’amawulire oluvannyuma lw’okwekandagga.

Bano baweereddwa akakisa okwogerako eri abalonzi nga wano Ssenyonga w’aviiridde mu kalulu. Wadde nga Hajji Ssemakula agezezzaako okwogereza Awuye abadde alina obuwagizi obungi abeereko omu ku banne bwe babadde beesimbyewo gw’aba alekera, ono abalonzi bamugaanye okuwuliriza ebya Hajji Ssemakula era gye biggweredde nga Awuye awangudde okulonda kuno.

Okulonda kw’abavubuka nakwo kubaddemu okuwakanyizibwa oluvannyuma lw’awanguddwa, Hakim Ssenfuka okukuba ebituli mu buwanguzi bwa munne, Abdul Malik Kiberu. Wabula bino tebigaanye Kiberu kulangirirwa ku bulembeze bwa ssentebe wa NRM ow’abavubuka owa disitulikiti y’e Mukono.

Davis Lukyamuzi (ayogera) awanguddwa ku bumyuka bwa ssentebe wa NRM owa disitulikiti, (ow’okubiri ku ddyo) Yusuf Awuye awangudde.

Ekifo ky’omuwanuka wa NRM nakyo kibaddemu okulya n’okukomba essowaani, oluvannyuma lwa Hajji Umar Ddumba okwekandagga n’ava we balondera ng’okulonda ku kifo kyabwe tekunnatuuka.

We basomedde erinnya lye ng’ono taliiwo olwo banne okubadde Fred Gonja, Juma Kasimaggwa ne bagenda okusimba abalonzi balonde. Hajji Ssemakula abaddeko amasannyalaze olwa leero, asoose kusimba ku Gonja, kyokka ate bw’amaze n’amuvaako n’adda ku Mark Kabunga ategeezezza nti abadde akiikiridde Hajji Umar Ddumba.

Benon Ssekanyo, akuliddemu okulonda kwa NRM e Mukono.

Wabula bino abalonzi tebabikkirizza ne basalawo okusimba mu bungi mu mugongo gwa Juma Kasimaggwa nga wano Hajji Ssemakula alabye abalonzi bamujeemedde n’asalawo okulumba Kasimaggwa amulagire ave mu kalulu olwo Haji Ddumba gw’aba awa obuwagizi naye kino ne kitasoboka olw’abawagizi okumutaamira nga bagamba nti babadde baamaze okumulonda nga tekikyalina makulu ate okweyingiza mu kulonda kwabwe.

Gye biggweredde nga Kasimaggwa alangiriddwa ku buwanguzi ng’omuwanika wa NRM owa disitulikiti y’e Mukono.

Hakim Kyeswa, omwogezi wa NRM mu disitulikiti y’e Mukono omulonde.

Ate Margaret Nakavubu awangudde Vivian Kalule Kobusingye ku kifo ky’omuwandiisi wa NRM mu disitulikiti ku bululu 192 ku bululu 33.

Mu bakadde, Haji Ahmed Kakande awangudde Fred Balenzi n’ategeeza nti kino abakadde bamusasudde olw’obuweereza bw’azze abakolamu ebbanga lyonna kuba tabaguliridde naye bakirabye ng’asaanidde.

Ye Benon Sskanyo nga y’akuliddemu okulonda kuno ategeezezza nti akoze kyokka ekisoboka okulaba ng’okulonda kuno kubeera kwa mazima na bwenkanya kyokka n’ategeeza nti Hajji Ssebaggala abadde wa ddembe okwekandagga ne banne nga bwe bakoze.

Nakavubu awangudde obuwandiisi bwa NRM mu disitulikiti y’e Mukono.

Ye Hakim Kyeswa awangudde ku kifo ky’omwogezi wa NRM mu disitulikiti y’e Mukono ku bululu 153. Awangudde Steven Musoke afunye obululu 34 ne Travis Bogere afunye obululu 41. Ye Juliet Nassuuna yawangudde Samalie Musenero olwo Nassuuna n’abawagizi be ne babinuka masejjere.

Wabula bammemba beemulugunyizza ku mutindo gw’abalondesa abakuliddwamu Benon Ssekannyo nga bagamba nti omutindo gwabwe gubadde gwa kibogwe nnyo nga babakozesa bukozesa.

Juma Kasimaggwa, omuwanika wa NRM mu disitulikiti y’e Mukono omulonde.
Yusuf Awuye, omumyuka wa ssentebe wa NRM mu disitulikiti omulonde.

 

Hajji Ahmed Kakande, ssentebe w’abakadde mu disitulikiti omulonde.
Nassuuna Juliet, wa bakyala awangudde.
Haji Kakande (ku kkono) ng’ali ku line ne gw’awangudde Fred Balenzi (ku ddyo).
Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!