Omumyuka wa Katikkiro Nsibirwa ng'asika mu mukono gwa ssenkulu wa BLB Kaboggoza, ku kkono, ye Dr. Maria Lwanga Bwanika ssentebe wa disitulikiti y'e Wakiso.

Wadde UCDA Evuddewo, Obwakabaka Tebugenda Kupondooka Ku Mmwanyi-Katikkiro

Oluvannyuma lwa palamenti ya Uganda okuyisa ekiteeso ekiggyawo ekitongole ekibadde kivunaanyizibwa ku kutumbula omutindo gw’emmwanyi n’okuzirabirira ekya UCDA, Obwakabaka bwa Buganda buvuddemu omwasi nga bugamba nti wadde byonna bikoleddwa, tebugenda kupondooka ku nsonga y’okukunga abantu mu Buganda n’ebweru waayo okulima emmwanyi.

Omumyuka wa Katikkiro wa Buganda ow’okubiri, Robert Wagwa Nsibirwa agambye nti tekikyali kya nkiso, kitegeerekese bulungi ng’emmwanyi bw’erina enkizo ey’amaanyi wano mu Buganda ku kutumbula eby’enfuna by’abantu ba ssekinnoomu n’agamba nti ka kibe ki, abantu tebasaanidde kupondooka wabula balina kwongeramu maanyi kusimba mmwanyi n’okulabirira ezo ze baasimba edda.

Omumyuka wa Katikkiro Nsibirwa, ssentebe Bwanika n’abakulembeze abalala.

Okwogera bino, Nsibirwa, ng’era ye muwanika wa Buganda, asinzide ku WAKISHA Resource Center mu lukiiko oluteekateeka embalirira ya disitulikiti y’e Wakiso. Okusinziira ku bakugu mu by’ensimbi ku disitulikiti y’e Wakiso, embalirira ya disitulikiti ey’omwaka gw’eby’ensimbi 2025/2026 esuubirwa okulinnya okuva ku buwumbi 122 okutuuka ku buwumbi 144 ng’essira lyakuteekebwa ku bulimi naddala ekirime ky’emmwanyi.

“Njagala Abaganda babeere bagumu nga bakimanyi nti Obwakabaka tebugenda kupondooka wabula bugenda kuwagira abalimi b’emmwanyi abeeteeseteese obulungi okwerimira emmwanyi etunda nga keeki eyokya mu kadde kano,” bw’agambye.

Mu ngeri y’emu ategeezezza ng’Obwakabaka bwe bugenda n’okuyambako disisitulikiti y’e Wakiso okukunga abantu okwettanira enteekateeka ey’okufukirira ebirime nga abalimi basasulayo akasente katono okufuna ebyuma ebifukirira.

Dr. Matia Lwanga, ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso naye asinzidde wano n’ategeeza nti ebyasaliddwawo palamenti olunaku lw’eggulo tebigenda kubalemesa kukubiriza bantu mu Wakiso kwerimira kirime ky’emmwanyi kubanga byasaaliddwawo lwa ffitina abantu abamu gye balina ku Buganda n’Abaganda abasinga obungi mu mulimu gw’okulima emmwanyi.

Ate ye ssenkulu w’ekitongole kya Buganda Land Board (BLB) Simon Kaboggoza Muwanga asabye abakulembeze mu disitulikiti y’e Wakiso okwongera okusomesa abantu baabwe naddala mu bitundu  ebisingamu  enkayaana  z’ettaka n’okubakunga okufuna ebiwandiiko ku bibanja  byabwe basobole okukendeeza ku muwendo gw’emisango mu kkooti ez’enjawulo egyekuusa ku nkaayana z’ettaka.

Kaboggoza era yawadde ab’ebibanja amagezi bulijjo obutateekawo luwonko wakati waabwe ne bannanyini ttaka wabula bakole kyonna ekisoboka okulaba nga batambulira wamu ng’ekimu ku birina okukolebwa kwe kulaba nga bawa obusuulu n’okutereeza obwannanyini bwabwe ku bibanja bye baliko.

Ssentebe w’e Wakiso, Dr. Matia Lwanga Bwanika ng’ayogera.

Reasons Why More Than 100 P7 Candidates Missed PLE in the District!

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!