Nnaabagereka Akunze Abakyala Okwenyigira mu Bifo By’obukulembeze

0 minutes, 37 seconds Read

Nnaabagereka Sylvia Nagginda asabye abakyala okwenyigira mu bifo by’obukulembeze beeyongere okuganyula nnyaffe Buganda ne Uganda yonna okutwalira ewamu.

Nnaabagereka obubaka buno abuweeredde ku Golf Course Hotel mu Kampala, mu lukungaana lw’Abakyala abeegattira mu bibiina eby’enjawulo ebirwanirira eddembe ly’Omukyala “Annual Buganda Women Human Rights Defender’s conference” wansi w’omulamwa; “Ssiga mu Mukyala, okulaakulane”, n’ategeeza nti abakyala balina obwongo n’amagezi ag’enkulaakulana era singa amagezi ago bagateeka mu bifo by’obukulembeze eggwanga lisobolera ddala okugenda mu maaso.

Akubidde bannabyabufuzi, n’abantu bassekinoomu omulanga okusiga mu bakyala mu ngeri ez’enjawulo naddala mu by’enjigiriza, eby’enfuna, eby’enkulaakulana, n’okufuba okulaba nga teri mukazi alekeddwa mabega mu nteekateeka ez’ensonga enkulu era ensi bw’eba ya kukyuuka Abakyala balina okubeera ku mwanjo.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!