Ababiito B’e Kibulala Bambalidde Ssaabakabona Jjumba Aligaweesa Lwa Kukongojja Musamize nga Kabaka

1 minute, 52 seconds Read

Ababiito be Kibulala begaanye omusamize Wasajja Moses, eyeeyita Kabaka w’emisambwa e Kibulala eyalabikiddeko mu katambi nga akongojjebwa nga Kabaka.

Akatambi akoogerwako kalaga omwanjuzi w’omukolo ogwo era omusamize naye eyeeyita Ssaabakabona Jjumba Lubowa Aligaweesa, ng’ayanjula musamize munne Wasajja Moses nti atuuziddwa ku Nnamulondo ya Bajjajjaabe e Kibulala e wa Ssekabaka Winyi.

Ekiwandiiko ekirambika ku nsonga eno kifulumiziddwa Ssaababiito w’e Kibulala Omulangira Walugembe Kateregga, era akisomedde bannamawulire mu lukungaana lwabwe olutudde ku Bulange e Mengo, n’awakanya ebikolwa ebyo.

1). Agamba nti Olubiri lw’e Kibulala lumanyiddwa bulungi mu Bwakabaka bwa Buganda nti bwe butaka bw’Abalangira n’Abambejja Ababiito abasibuka mu Ssekabaka Winyi Chwa Male Wasswa, ng’ono yazaalibwa ne balongo banne okuli ne Chwa Nabakka e Bugumya. Era Abalangira b’e Kibulala olwa leero bakulemberwa Ssaababiito Walugembe Kateregga ow’okutaano era obwa Ssaababito obwasooka bwateekebwateekebwa Ssekabaka Daudi Chwa mu 1800, olwo Sir Edward Muteesa n’atongoza Olulyo lw’Abalangira Ababiito mu bwa Wasswa n’okutuusa kati era Nnaalinnya w’Amasiro g’e Kibulala e wa Winyi mu kiseera kino ye Mumbejja Dina Kigga muka Lukidi omwana wa Ssekabaka Sir Edward Luwangula Muteesa II.

2). Ennono n’obuwangwa eby’Abalangira n’Abambejja b’e Kibulala etambulira wamu n’olulyo Olulangira olw’abaana ba Kabaka Kintu era Ssaababiito Walugembe akakasizza obuganda nti Ssaababiito, ba Jjajja abakulira emituba batambulira wansi wa Ssaabasajja Kabaka wa Buganda era n’Obuganda.

Maama Eyaleka Ow’emyezi 8 Emyaka 2 N’ena Bokka mu Nnyumba Abeewanisizza Emitima!

Ssaababiito Walugembe Kateregga akkaatirizza nti abo ab’eyita ba kabaka b’emisambwa nga Kafunenda Moses nga beegasse wamu n’abeeyita ba Ssaabakabona Jjumba e Kibulala nti tebabamanyi era emikolo gyabwe baagikolera eyo mu Buddu sso ssi Kibulala e Ssingo era balina ebigendererwa bya kutabangula bwa Kabaka nga beesigama ku Kibulala ate ng’e Kibulala tebalinaayo mikolo gyonna gyekuusa ku kutuuza Kabaka ng’egyo egirabikira mu katambi.

Ye Nnaalinnya Dina Kigga ategeezezza nti emikolo Omulangira Moses Wasajja gye yakola tebagimanyiiko era byonna bye yakola bya kyewaggula.

Omulangira Luwangula Basajjansolo Jjajja w’Olulyo Olulangira mu Bwakabaka bwa Buganda, asabye bazzukulu ba Buganda okwewala okwenyigira mu nsonga eyinza okuvaako okutabangula emirembe mu Bwakabaka kubanga Obwakabaka bwa Buganda bulina emitendera egiyitibwamu okutuuka ku Ssaabasajja Kabaka, n’olw’ekyo teri muntu yenna k’abe musawo wa kinnansi akkirizibwa kubaako mukolo gwa nnono gw’akola ng’obwakabaka bwa Buganda tebumuwadde lukusa. Bw’atyo n’asaba abo abeenyigira mu bikolwa bino nti bakimanye batabangula Nnamulondo.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!