Ssaabakristu Bateganya ne mukyalawe Kagoya gwe yasse.

Poliisi Eyigga Ssaabakristu Asse Mukaziwe Ng’entabwe Eva ku Bwenzi

2 minutes, 0 seconds Read

Poliisi mu bitundu bya Ssezibwa mu disitulikiti y’e Buikwe eri ku muyiggo gw’omusajja eyavudde mu mbeera n’akuba mukaziwe ku mutwe n’amutta. Kigambibwa nti Ronald Bateganya omuvuzi wa ttakisi ng’era ye Ssaabakristu w’ekisomesa ky’e Busagazi mu Buikwe yakwatidde mukaziwe Betty Kagoya mu bwenzi mbu nga yeegadanga n’asikaali wa bbiici yaabwe n’ava mu mbeera.

Kagoya nga ye Nnaabafumbo mu kisomesa ky’e Busagazi abatuuze bagamba nti bba yamusenzesenze n’amutegeeza nga bwe bagenda okucakala n’amuteeka mu mmotoka yaabwe ekika kya Wish nnamba UBN 651P kyokka bwe baatuuse mu kkubo n’amukuba ku mutwe n’amutta omulambo n’aguvuga n’aguleka mu mmotoka mu kikajjo e Lugazi olwo ye n’abulawo.

Abatuuze b’e Kasoga – Butavujja be baagudde ku mmotoka ng’esimbye mu bikajjo wakati nga bwe baagisemberedde ne balengeramu omulambo gw’omuntu ate nga wawunya n’eddagala ly’ebirime.

Ugandan High Court Judge Convicted of Immigration, Modern Slavery Offences

Bano baayise poliisi y’e Lugazi eyasitukiddemu n’aggyayo omulambo gwa Kagoya n’egutwala mu ggwanika ly’eddwaliro e Kawolo okwekebejjebwa ng’okuyigga Bateganya bwe kugenda mu maaso. N’emmotoka nayo yatwaliddwa ku poliisi e Lugazi.

Wadde ng’abamu ku batuuze balowooza nti Bateganya yandiba nga naye yesse, omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Ssezibwa Helen Butoto yategeezezza nti poliisi yabakanye dda n’omuyiggo okulaba ng’emuzuula bw’anaaba mulamu avunaanibwe omusango gw’obutemu.

Bateganya yeekutte eddoozi n’alisindikira abantu ab’enjawulo ng’abategeeza nga bwe yabadde yekyaye n’atta mukaziwe ng’entabwe eva ku bwenzi.

Okusinziira ku bubaka mu ddoboozi lya Bateganya lyennyini agamba nti mukyalawe abadde asusse obwenzi ng’olumu ne baganzi be abaganzika ku buliri bwabwe ewaka. Agamba nti amaze emyaka mingi ng’agezaako okuzza emmeeme ya mukyalawe ave mu bikolwa eby’obwenzi, nga yatuuka n’okumukuba empeta, naye ne bigaana.

Agattako nti omukyala abadde amusuubiza okumutta, olwo ye mbu kye yavudde amusooka okumuggyawo nga ye tannaba kumutta.

Kansala wa Buikwe ttawuni kkanso, Amir Kiggundu yavumiridde ekikolwa kino n’akubiriza abantu nti bwe bafuna obutakkanya, kirungi ensonga okuzireeta mu bangi babayambe okubatawulula okusinga okuggyawo obulamu ne baleka n’amabujje nga bano bwe baakoze.

Bateganya ne mukyalawe Kagoya bamaze mu bufumbo ebyaka 25 nga balina abaana munaana.

Omutuuze Juliet Kyeyune agamba nti obubaka bwa Bateganya bwatuuse mu batuuze ku ssaawa ssatu ez’ekiro, ng’abasaba okulabirira amaka ge kubanga ye ne mukazi we baabadde bagenze.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!