BYA TONNY EVANS NGABO
Abaddu ba Allah mu Munisipaali ya Makindye Ssaabagabo mu disitulikiti y’e Wakiso bakungaanidde ku Masjid Musa Kanaaba okusaala Iddi Al-Fitr olunaku lwa leero.
Bw’abadde akulembeddemu okusaala kuno, Sheikh Yasin Kanyike nga y’akulira eby’enjigiriza mu disisitulikiti y’e Wakiso ku ludda lw’enzikiriza y’Ekiyisiraamu yeekokkodde ebikolwa ebikolebwa abamu ku bakkiriza nga bityoboola ekitiibwa ky’Obusiraamu ng’anokoddeyo abo ababbirira omwenge n’amazambi amalala.
Sheikh Kanyike mu ngeri endala asabye Abasiraamu nti ne wankubadde nga waliwo abalina obutakkaanya ne bannaabwe naye bakulembeze ensonga y’okwagalana n’okusonyiwagana ssaako okubeeregana.
Abasiraamu ababadde banekaanekanye mu makanzu ne zi hijaabu abakazi n’abasajja ssaako abaana beeyiye mu bungi mu kusaala kuno nga bano bakubiriziddwa n’okugaba nga bawa abo abali mu bwetaavu.
Basabiddwa n’okwewala emize gye babadde baaleka mu kiseera kye babadde mu kisiibo kuba kitegeeza nti gino gikontana n’enzikiriza y’Obusiraamu.