Omubaka wa palamenti akiikirira ebizinga by’e Buvuma, Robert Migadde Ndigwa akawangamudde bw’ategeezezza eggwanga nti abasirikale b’eggye lya UPDF abaasindikibwa ku nnyanja okulwanyisa envuba emenya amateeka, ogwabasindisaayo baaguvaako dda kati bennyini be badda mu kuvuba n’okusuubula eby’ennyanja.
Migadde agamba nti eby’embi kwe kuba nti bbo Bannayuganda abawangaalira mu bizinga abaali bayimirizaawo obulamu bwabwe ku nnyanja nga bayita mu kuvuba eby’ennyanja omuli empuuta, engage, mukene n’ebirala ate bano omulimu guno gavumenti nga yeeyambisa ab’amagye bano n’ebitongole ebirala omuli ne minisitule y’eby’obuvubi baabagoba ku nnyanja!
Okwogera bino, omubaka Migadde asinzidde ku pulogulaamu ya Zuukuka n’ensonga ebeerawo ku makya ku BBS TV.
Ono akiikidde gavumenti ensingo olw’okusindika amagye ku nnyanja ng’agamba nti gaali tegeetaagisa kubanga guno mulimu ogutetaaga lyanyi wabula gwetaaga kulung’amya.
Okusinziira ku mubaka Migadde, amagye bwe gaali gaakagenda ku nnyanja gaasooka ne gakola bulungi omulimu ogwagatwaza wadde nga gaakozesanga obukambwe bungi, wabula kati ate gaayingirira obusuubuzi bw’ebyennyanja era kati bannamagye bavuganya n’abavubi mu kiseera kye kimu ng’ate abasinga ne ku nnyanja baabagbako.
“Gavumenti z’amawanga agatuliraanye omuli Kenya ne Tanzania zikwatizaako ku bavubi baazo abavubira mu Uganda okulaba nga bafuna mu mulimu guno era bbo bafunamu nnyo okusinga Bannayuganda bannannyini nnyanja” omubaka Migadde bw’ategeezezza.
Asabye gavumenti n’abantu abalala be kikwatako okumanya nti obuvubi mulimu era okuvuba tekikolebwa mu kinyumu nga abamu bwe balowooza.
Omubaka agamba nti abantu abatwala obuvubi ng’ekintu kitali kya maanyi be baviirako omulimu guno okufeeba n’abavubi obutafiibwako.
“Gavumenti bw’eba eyagala okutereeza omulimu gw’obuvubi terina kukulembeza bannamagye wabula erina kufuna bantu abalina obukugu ne bakolagana n’amagye olwo ggo ne gasigala kuwa bantu bukuumi ku nnyanja,” bw’ategeezezza.
Namilyango Junior Boys’ School Shines Again in Queen’s Commonwealth Essay Writing Competition