author

Abakulembeze e Wakiso Basabye Pulezidenti Museveni Okuwuliriza Okusaba Kw’abantu ku Ky’abantu Abaasibibwa Olw’eby’obufuzi

Abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okuviira ddala mu kulonda okwaliwo mu mwaka gwa 2021 bazzenga basaba omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni okuyimbula abantu bonna abaasibibwa olw’eby’obufuzi. Wabula nga bano bakulungudde mu makomera emyaka egisoba mw’esatu nga n’abantu baabwe babonaabonaabona ebitagambika omuli abaana abaava mu masomero nga n’abamu eky’okulya kibeekubya mpi, okusaba kwabwe Pulezidenti Museveni ne gye […]

Abawuliriza ba Radio Dunamis Badduukiridde Bamaama Abali Embuto ne Bannakawere

Abawuliriza ba Radio Dunamis FM esangibwa mu kibuga Mukono nga bayita mu kibiina mwe beegattira ekya Strong Signal badduukiridde abakazi abali embuto n’abo abamaze okuzaala ku ddwaliro lya Mukono General Hospital n’ebikozesebwa okusobola okubayamba  okuyita mu mbeera eno obulungi. Bano nga bakulembeddwamu Ssaava Stephen Mutebi Junior akola pulogulaamu y’Ensi mu Kattu ku Dunamis Radio badduukiridde […]

RDC ne DPC Balabudde Abaneekiika mu Nteekateeka Y’okugema Yellow Fever

Omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y’e Buvuma (RDC), Jackeline Kobusingye Birungi  ng’ali wamu n’aduumira poliisi mu bizinga by’e Buvuma Micheal Bagoole balabudde okuggalira n’okukangavvula abantu bonna abaneekiika mu nteekateeka ya gavumenti ey’okugema omusujja gw’enkaka.  Okugema omusujja gw’enkaka (Yellow Fever) kwatandise ku Lwokubiri nga April 2 nga kugenda kutambula okutuuka nga April 8, nga kutambudde mu […]

One-Year-Old Boy Killed in a Ritual Murder, Body Dumped in Church Pit Latrine

The Police in Mukono district are hunting for the suspects behind the ritual murder of a one-year-old boy. Police identified the deceased as Shon Sserunkuuma, a son to Jackeline Namatovu residing at Buyuki village in Katoogo parish in Nama sub-county, Mukono district.  Kampala Metropolitan Police spokesperson, Patrick Onyango told our reporter that Sserunkuuma disappeared from his […]

Omusika Eyezza N’okutunda Ebintu bya Ffamire Bamugobye ku Busika

Bya Abu Batuusa Ab’oluganda beekyaye ne bagoba omusika eyasikira kitaabwe ku busika lwa kutunda bya bugagga bye baabalekera n’okumenyawo ennyumba kitaabwe gye yalekawo ng’amaka ag’okukungaaniramu. Bano baawandise ekiwandiiko ne kisomebwa mu lukiiko olwakubiriziddwa ssentebe w’ekyalo. Bino byabadde ku kyalo Tula-Kawempe mu munisipaali y’e Nansana. Gwe babisibidde ku nnyindo ne bamutwala n’ekisubi ku liiso okuva ku […]

Poliisi Ekutte Omusamize ku By’omwana Eyasaddaakiddwa e Mukono-Bamusanze N’emirambo 7

Poliisi e Mukono eriko omusamize gw’etaasizza ku batuuze ababadde bataamye nga baagala kumutta oluvannyuma lw’okusangibwa n’ebitebeerezebwa okubeera emirambo gy’abantu musanvu. Ivan Kaggwa ng’emirimu gye agikakkalabiza ku kyalo Katoogo y’akwatiddwa ku by’ekuusa ku kusaddaaka kw’omwana ow’omwaka ogumu n’emyezi esatu Shon Sserunkuuma mutabani wa Jackeline Namatovu ng’ono yabuzibwawo nga March 26, ku kyalo Buyuki mu muluka gw’e […]

error: Content is protected !!