Eria Lwasi Buzaabo alondeddwa ku bwa Lwomwa, ng’ono ye mukulu w’Ekika ky’Endiga. Lwasi y’abadde Katikkiro wa Lwomwa omubuze Ying. Daniel Bbosa. Lwasi ayanjuddwa ewa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, ng’oluvannyuma ono y’anaamwanjula ewa Ssaabasajja Kabaka wa Buganda. Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye Lwomwa omuggya okukumaakuma bazzukulu be, n’okukimanya nti Ssaabasajja Kabaka ye Ssaabataka. Katikkiro […]
Bya Tonny Evans Ngabo Abatuuze ku byalo musanvu ebisangibwa mu ggombolola y’e Masuuliita mu disitulikiti y’e Wakiso ge bakaaba ge bakomba ng’entabwe eva ku nnamutikwa w’enkuba abalese nga bafumbya miyagi. Ebyalo ebikoseddwa mu kibuyaga ono kuliko; Nampunge , Lube, Bbaale, Mwera, Katikamu ne Gobero mu ggombolola y’e Masuliita mu disitulikiti y’e Wakiso nga bano mu […]
Gavumenti ng’eyita mu Minisitule y’ekikula ky’abantu emalirizza enteekateeka z’okuggala amaka agakuuma abaana abagambibwa okuba nga tebalina mwasirizi 24 nga gano gasangibwa mu disitulikiti y’e Mukono. Okusinziira ku mukungu okuva mu minisitule, Shafiq Butanda, amaka gano 24 gateeberezebwa okuba nga gakuumirwamu abaana 1200 wabula nga bano baliyo mu bumenyi bw’amateeka kuba Minisita w’ekigula ky’abantu avunaanyizibwa ku […]
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga alungamizza ku muti gw’omuwafu ogugambibwa okuba ogw’ebyafaayo ogubadde ku yunivasite y’e Kyambogo nga guno kibuyaga yagusudde. Katikkiro asabye Ssettendekero wa Kyambogo okusimba omuti omuggya gudde mu kifo ky’omgwo omukadde ogwagudde. Okusaba kuno Katikkiro akuyisizza mu kiwandiiko ky’awandiise ekiraga ebyafaayo by’omuti guno n’amakulu g’ekifo we gwasimbibwa. Mukuumaddamula agambye nti omuti […]
Olukiiko olutwala eby’okwerinda mu disitulikiti y’e Mukono kluli ku muyiggo gw’eyali omukozi wa gavumenti n’agobwa ku mulimu agambibwa okuba nti agufudde mugano okubba abantu mu lukujjukujju. Henry Mayanja nga yali amyuka tawuni kiraaka w’e Katosi nga mu kiseera kino b’aggyako ssente mu lukujjukujju abategeeza nga bwali omumyuka w’akulira abakozi (CAO) mu disitulikiti y’e Mukono. Mayanja […]
Resident District Commissioners (RDC), and other security organs under the Office of the President have been tipped to work with both opposition political leaders and technical people at their districts. Haji Yunus Kakande, the Permanent Secretary to the Office of the President made the call after receiving complaints from RDCs and their deputies about the criticism and […]
Poliisi ng’eri wamu n’ebitongole by’eby’okwerinda ebirala enyinnyittizza okubuuliriza ku butemu bw’emmundu obwakoleddwa ku mukulu w’ekika ky’Endiga, Lwomwa Ying. Daniel Bbosa eyakubiddwa amasasi agaamutiddewo ku Ssande e Lungujja mu kibuga Kampala. Wabula ekitiisa mu nsonga eno, kwe kuba nti okubuuliriza kwa poliisi kusonze ne mu bamu ku bakungu mu Bwakabaka bwa Buganda nga mukaaga ku bano […]
Bya Tonny Evans Ngabo Minisitule ya gavumenti ez’ebitundu mu ggwanga ekakasizza nga bw’egenda okulowooza ku nsonga y’okwongera disitulikiti y’e Wakiso ensimbi okukira ku ndala olw’ekikula kyayo, emirimu egikolebwayo n’obungi bw’abantu abalimu. Kuno kwe kugattiddwa n’okukkiriza okusuumuusa eggombolola ya Wakiso Mumyuka etuuke ku mutendera gwa ttawuni kkanso. Kino kiddiridde ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso, Dr Matia […]
Ekifaananyi ky’omusajja Enock Sserunkuuma agambibwa okukuba amasasi agasse omukulu w’ekika ky’endiga kizuuse. Sserunkuuma yattiddwa abantu oluvannyuma lw’okukuba amasasi Omutaka w’ekika ky’Endiga, Lwomwa Ying. Daniel Bbosa. Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, yagambye nti Sserunkuuma yabadde mutuuze w’e Lungujja mu divizoni y’e Lubaga mu kibuga Kampala. Abatuuze mu kitundu gye yali abeera e […]
Bya Tonny Evans Ngabo Abasomesa abatannafuna buyigirize butuuka ku ddiguli baweereddwa amagezi okuddayo amangu basome ng’embeera tennaboonoonekera. Godfrey Kiyingi Kinobe, atwala eby’enjigiriza mu disitulikiti y’e Wakiso agamba nti ssaawa yonna gavumenti egenda kuteeka mu nkola etteeka ly’abasomesa eriragira buli musomesa okubeera n’obuyigirize obwa ddiguli nga kino bwe kinaakolebwa bangi emirimu gyakuggwawo. Kinobe bino yabyogeredde ku […]
