Ekyalo Namawojjolo East ekisangibwa mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono kifuuse kya bulambuzi olw’abantu abava okumpi n’ewala nga bagenda okwelabira ku muvubuka ow’emyaka 18 akoze ebyafaayo bw’avumbudde amafuta agatambuza ebidduka. Bashir Kanaabi atemera mu gy’obukulu 18 gyokka nga yakola Ssiniya ey’okuna (S4) omwaka oguwedde y’afuuse ensonga. Kanaabi agamba nti amafuta agakola mu kasasiro […]
Abakozi mu ffakitole ekola empapula eya Sena era amanyiddwa nga Ever Package Uganda Limited baaguddemu encukwe bannaabwe basatu bwe baafunidde obubenje ku mulimu okukkakana ng’omu ku bbo ekyuma kimutemyeko omutwe. Gerald Wasswa Mukisa (18) abadde yaakafuna ebyava mu bigezo bya S4 eby’omwaka oguwedde nga kati abadde akola nga bw’akungaanya ensimbi ez’okuddayo okusoma mu S5 ekyuma […]
Munnamawulire Suuna Ben abasinga gwe bamanyi ng’ow’ebinyaanyanyaanya afiiriddwa maamawe. Maama wa Suuna Ben gw’asinga okwogerako nga Muky. Kayondo afudde mu kiro ekikeesezza olwa leero. Suuna Ben akola ku Radio Bukedde amawulire g’okufa kwa maamawe akuyisizza ku mukutu gu mugatta bantu ogwa Facebook enkya ya leero. “Wumula mirembe maama wange, gwe abadde buli kimu kyange!!! 😭😭😭,” […]
Disitulikiti y’e Wakiso kyaddaaki ettadde omukono ku ndaagano ne kkampuni y’Abachina eya CHONGQING INTERNATIONAL CONSTRUCTION CORPORATION (CICO) okukola oluguudo lwa Ssentema -Bukasa – Kakiri olumaze ebbanga nga lukaabya Bannayuganda abalukozesa olw’enfuufu ebadde esusse okubalwaza ebirwadde n’okubafiiriza bbizinensi. Pulojekiti eno yaakuwemmenta obuwumbi bw’ensimbi za Uganda obusoba mu 66 mu nteekateeka evujjurirwa banka y’ensi yonna. Akulira abakozi […]
Abaana bana baagudde mu nnyanja bwe baabadde bazannyisa bbaluuni okukkakkana nga basatu ku bbo bafudde ate omu n’asimattuka abatuuze bwe baamutaasizza nga tannabbira. Ekikangabwa kino kyagudde ku mwalo gw’e Nakibizzi mu muluka gw’e Namatale mu ggombolola y’e Bwema mu disitulikiti y’e Buvuma ku Lwokutaano mu ttuntu. Abaafudde kuliko Seera Tolofayina ow’emyaka 12, Livingstone Mulakama ow’emyaka […]
BYA ABU BATUUSA | NANSANA | KYAGGWE TV | Poliisi y’e Nansana n’amagye bakubye amasasi mu bbanga nga bakwata abateberezebwa okubeera ababbi abatigomya ebitundu by’e Nansana n’emiriraano. Ab’eby’okwerinda bano babadde baduumirwa omuduumizi wa poliisi Anthony Nsadha era nga basobodde okukwata abantu abasoba mu 80 okuva mu bitundu okuli Nabweru mu Kafunda, mu Kibuloka, ku ky’e […]
Ababiito be Kibulala begaanye omusamize Wasajja Moses, eyeeyita Kabaka w’emisambwa e Kibulala eyalabikiddeko mu katambi nga akongojjebwa nga Kabaka. Akatambi akoogerwako kalaga omwanjuzi w’omukolo ogwo era omusamize naye eyeeyita Ssaabakabona Jjumba Lubowa Aligaweesa, ng’ayanjula musamize munne Wasajja Moses nti atuuziddwa ku Nnamulondo ya Bajjajjaabe e Kibulala e wa Ssekabaka Winyi. Ekiwandiiko ekirambika ku nsonga eno […]
BYA ABU BATUUSA | WAKISO | KYAGGWE TV | Waliwo maama eyeewanisizza abatuuze emitima ng’entabwe eva ku kuva waka n’aleka abaana abato bokka mu nnyumba kati ebbanga erisobye mu wiiki emu. Hidaya Namukasa ye yeewanisizza emitima abatuuze ku kyalo Kigoma mu muluka gw’e Bukasa mu ggombolola y’e Wakiso mu disitulikiti y’e Wakiso oluvannyuma lkw’okuva ewaka n’atakomawo […]
Waliwo Ssemaka ow’abakazi abana ebbuba gwe litembye ku jjoba n’akkira omugole n’amufumita ekiso mu lubuto n’amuyiwa ebyenda. William Woira ne kabiitewe omugole nnamba nnya Petua Nabirye gw’abadde yaakamala naye ebbanga lya myaka ebiri nga batuuze ku kyalo Butale mu ggombolola y’e Bugulumbya mu disitulikiti y’e Kamuli be baddusiddwa mu ddwaliro lya Kamuli General Hospital nga […]
RDC w’e Wakiso, Justine Mbabazi alagidde poliisi n’ekwata ‘parish chief’ n’abalala babiri ng’entabwe eva ku kubulankanya sente za PDM. Bano okukwatibwa kiddiridde abatuuze mu muluka gw’e Nakabugo mu ggombolola ya Wakiso-Mumyuka okubalumiriza nga bwe baabawa ssente za PDM ez’ebitundu kyokka ate ne babasaayiningisa ssente ndala ezisinga kw’ezo ze baafuna ekiggye RDC Mbabazi mu mbeera n’alagira […]
