Abalangira n’Abambejja awamu n’Abasiramu baakunganye mu bungi mu kujjukira abantu abakoleredde ennyo Obusiramu okwali n’Omulangira Nuhu Mbogo ng’ono ye yawaayo n’ettaka okwazimbwa omuzikiti ogumanyidwa ogwa Mbogo e Kawempe. Bano baasoose na kulomba dduwa obwedda ekulemberwa ba maseeka era nga mwetabiddwamu abantu bangi okwabadde bannabyabufuzi, Abalangira, Abambejja, Bassaava ne Bannaava era nga Sheikh Abed Tamusuza ye […]
BYA WILBERFORCE KAWERE Minisita wa Ssaabasajja Kabaka avunanyizibwa ku gavumenti ez’ebitundu, okulambula kw’Omutanda n’abantu abali ebweru wa Buganda, Joseph Kawuki alabudde abaweereza mu Bwakabaka n’okusingira ddala abaami obutageza kuva ku mulamwa nga bakola emirimu mu ngeri eya gadibengalye n’okukola ebyo ebibaweebula ng’okutunda ettaka ly’Obwakabaka. Okulabula kuno, Minisita Kawuki abadde Kyaggwe mu Katende Gardens e Kalagi […]
BYA ABU BATUUSA Empologoma ya Buganda, Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’agabula ab’Olulyo Olulangira ng’akabonero ak’obumu n’okwongera okumanyagana mu lulyo luno. Bino byabadde mu ttabamiruka waabwe ow’omulundi ogw’omukaaga awamu n’okubanjulira ebiteeredwawo mu nteekateeka y’okukulaakulanya Olulyo Olulangira mu Buganda. Omukolo guno gwayindidde mu Lubiri lwa Ssekabaka Mawanda e Sserinya mu Gombolola y’e Mmende mu […]
Nnaabagereka Sylvia Nagginda asabye abakyala okwenyigira mu bifo by’obukulembeze beeyongere okuganyula nnyaffe Buganda ne Uganda yonna okutwalira ewamu. Nnaabagereka obubaka buno abuweeredde ku Golf Course Hotel mu Kampala, mu lukungaana lw’Abakyala abeegattira mu bibiina eby’enjawulo ebirwanirira eddembe ly’Omukyala “Annual Buganda Women Human Rights Defender’s conference” wansi w’omulamwa; “Ssiga mu Mukyala, okulaakulane”, n’ategeeza nti abakyala balina […]
Bazzukulu ba Gabunga ab’eddira Emmamba bafunye akaseko ku matama oluvannyuma lw’okufuna omutaka obbulukuse, ng’adda mu bigere by’omutaka omubuze, Mubiru Zziikwa. Omutaka Ali Mubiru Zziikwa, Gabunga Omubbulukuse, nga y’azze mu bigere bya kitaawe, Gabunga Omubuze ayanjuliddwa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga mu Bulange e Mengo olwaleero nga November 25, 2024. Busiro North MP Nsubuga Loses […]
The Katikkiro of Buganda, Charles Peter Mayiga has paid a condolence visit to the widow of former Namirembe Diocese bishop, the late Rt. Rev. Samuel Balagadde Ssekkadde who recently passed on in Kisubi Hospital after a short illness. Mayiga visited the widow Allen Nakabiito Ssekkadde at her home at Bugonga in Entebbe, where he said […]
Obuganda buguddemu ekikangwabwa oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okufa kw’omukulu w’ekika ky’Emmamba, Gabunga Mubiru Ziikwa owa 37. Okusinziira ku nsonda enneekusifu, Gabunga yafiiridde mu ddwaliro e Lubaga mu kiro ekikeesezza ku Ssande ku ssaawa nnya. N’okutuusa essaawa eno, omubiri gw’omugenzi gukyali mu ggwanika ly’eddwaliro lino ng’abakulu mu kika bwe bakwatagana n’Obwakabaka bwa Buganda okulaba enteekateeka z’okutereka omubiri […]
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asiisidde abavubuka abalumiziddwa kibuyaga atategeerekese gy’avudde bw’abalumbye mu Lubiri lwa Kabaka gye babadde nga bajaguza n’okukuza olunaku lw’abavubuka mu Buganda. Kigambibwa nti kibuyaga ono agoyezza ttenti abantu ab’enjawulo ne balumizibwa era ne baddusibwa mu malwaliro ag’enjawulo ng’embeera yaabwe si nnungi. Okusinziira ku babaddeyo, embeera eno ebaddewo ng’emikolo ginaatera okutuuka […]
Omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Kyaggwe, Ssekiboobo Vincent Matovu Bintubizibu atenderezza omukulu w’essomero lya St. Balikuddembe S.S Kisoga, Lydia Lukwago Kagoya olw’omulimu ogw’amaanyi gw’akoze mu ssomero lino emyaka emitono gye yaakamala ng’omukulu waalyo. Ssekiboobo agamba nti nga Munnakyaggwe amaze emyaka mu kitundu kino, mu myaka egikunukkiriza mu 30 essomero lino gye limaze abadde aliraba […]
The second Deputy Katikkiro of Buganda, Robert Wagwa Nsibirwa has appealed to Buganda farmers not to be derailed by the parliamentarians’ bid to pass a law rationalising the Uganda Coffee Development Authority (UCDA), but to continue growing coffee as the mainstay of their wellbeing. Nsibirwa, who doubles as the Buganda Kingdom’s treasurer noted that it […]