Ab’eby’okwerinda mu disitulikiti y’e Mukono nga nga bakulembeddwa RDC Hajjat Fatuma Ndisaba Nabitaka nga bali wamu n’abakola ku gw’okubala abantu mu disitulikiti ne munisipaali y’e Mukono baliko maneja wa loogi emu gwe bakutte n’atwalibwa ku poliisi e Mukono n’aggalirwa ng’avunaanibwa kulemesa nteekateeka ya kubala bantu mu kifo kino. Peace Namakula maneja wa Gofret Motel e […]
KITALO! Mutabani W’akulira Ettendekero Ly’Abasawo e Mulago Abadde Anoonyezebwa Asangiddwa mu Ggwanika nga Mufu! Lawrence Ospene ow’emyaka 21 nga mutabani wa Dr. Felix Ocom akulira ettendekero lya Mulago Institute of Public Health, y’asangiddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago. Kibadde kirowoozebwa nti Ospene yawambibwa abantu abatannategeerekeka kyokka kino si bwe kiri. Okusinziira ku bifaananyi bya kkamera […]
Embeera y’omubaka wa palamenti Muhammad Ssegirinya eyongedde okutabuka ekyeraliikirizza ennyo abawagizibe ne Bannayuganda bonna okutwalira awamu. Bano basabye abakulembeze mu kibiina kye ekya NUP ne Palamenti ya Uganda okukola kyonna ekisoboka okulaba nga bayamba ku ffamire ye okusobola okulaba ng’obulamu bwe butaakirizibwa. Ssegirinya ali mu ddwaliro lya Agha Khan e Kenya gy’amaze akaseera ng’ajjanjabibwa ebirwadde […]
Buli May 3, lwe lunaku lw’eddembe ly’ab’amawulire olw’ensi yonna. Mu mbeera eyo, ab’amawulire abakakkalabiza emirimu gyabwe mu mikutu egy’enjawulo nga basinziira mu bbendobendo ly’e Mukono beegasse ku bannaabwe okukuza olunaku luno. Bano bakungaanidde ku lutikko y’Abatukuvu Firipo ne Ndereya mu kibuga Mukono mu kusaba okukulembeddwa Provost wa Lutikko eno, Godfrey Ssengendo ng’ayambibwako Vviika wa Lutikko, […]
Poliisi e Kireka mu munisipaali y’e Kira ekutte n’eggalira omukazi agambibwa okuba malaaya eyakkakkanye ku muyizi omulenzi owa P.5 n’amusobyako. Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango ategeezezza nga poliisi bwe yakutte Sandra Lokot atemera mu gy’obukulu 28 omutuuze w’e Kireka Zone B ng’ono avunaanibwa kwekakaatika ku kalenzi ak’emyaka 15 egy’obukulu n’akakaka akaboozi ak’ekikulu. […]
Minisita w’ensonga z’omunda mu ggwanga, Gen. Kahinda Otafiire yasitukiddemu okutuuka ku kyalo ky’e Katoogo mu muluka gw’e Katoogo mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono ebadde esusse okubeera obunkenke olw’ebikolwa by’obumenyi bw’amateeka okweyongera. Bino mulimu obubbi bwa bodaboda n’okutta abagoba baazo ng’abatemu bano babadde basusse ate nga poliisi n’aby’eby’okwerinda tebalina kye bakolawo ekyaggya abatuuze […]
BYA BRENDA NANZIRI Nnaabagereka Sylvia Nagginda yatongozza kaweefube w’okulwanyisa n’okukendeeza omuwendo gw’abantu abalina obukosefu ku bwongo (mental health illness). Okusinziira ku basawo mu ggwanga, ekizibu ky’obulwadde bw’obwongo kicaase nnyo ensangi zino wabula nga kaweefube ono waakuyitibwamu okulaba ng’abalwadde b’emitwe basobole okufuna obulamu obweyagaza n’okutema empenda okulaba ng’abalala beewala embeera eziyinza okulwala. Kaweefube ono ng’atuumiddwa Queen’s […]
TikToker Ibrahim Musana amanyiddwa ennyo nga Pressure 24/7 eyaggalirwa olw’okuvvoola Pulezidenti Museveni ne Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II kyaddaaki kkooti emukkirizza okweyimirirwa. Pressure abadde mu maaso g’akulira abalamuzi mu kkooti ya Buganda Road, Ronald Kayizzi. Omulamuzi Kayizzi akkirizza Pressure okweyimirirwa ku kakalu ka nsimbi obukadde bubiri ez’obuliwo olwo ate abamweyimiridde ababiri obukadde 20 […]
Abatuuze ku kyalo Kalagala mu ggombolola y’e Ngogwe mu disitulikiti y’e Buikwe baguddemu encukwe, emmotoka ebadde ewenyuka obuweewo bw’eremeredde omugoba waayo ne yeerindiggula ennume y’ekigwo okukkakkana ng’abantu bataano bafu. Akabenje kano kagudde ku luguudo oluva e Nkokonjeru okudda e Nyenga. Abeerabiddeko n’agaabwe bategeezezza Kyaggwe TV nti abantu bana Ku munaana ababadde mu mmotoka eno bafiiriddewo […]
Lutikko y’Abatukuvu Firipo ne Ndereya e Mukono yawuumye ku mukolo gw’okutuuza Provost waayo ow’okutaano, Canon Godfrey Ssengendo. Canon Ssengendo yatuuziddwa omulabirizi w’e Mukono, Enos Kitto Kagodo ng’omugole yeeyamye okutumbula eby’obulamu n’eby’enjigiriza, okunyikizza enjiri mu bakkiriza, okukuuma ennono y’ekkanisa, okutumbula embeera z’abaweereza wamu n’okutondawo amakubo agavuumu ensimbi ezikola emirimu gya Lutikko gy’akulembera. Mu gumu ku mirimu […]