Bya Wilberforce Kawere
Ab’eby’obulamu n’abakwasisa amateeka mu munisipaali y’e Mukono bagadde bbizinensi eziwerako mu zone ya Kikooza mu Mukono Central Divizoni olw’abaziddukanya obutaba na kaabuyonjo bbo ne bakkasitoma baabwe mwe beeyambira.
Bbizinensi ezigaddwa zisoba mu 20 okuli ebirabo by’emmere, ebbaala ez’enjawulo, emidaala gy’ennyama y’embizzi, amadduuka agatunda eby’okulya n’okunywa n’endala nga zino zaasangibwa ku luguudo lwa Kikooza-Kame Valley.
Omusomesa w’eby’obulamu mu kibuga Mukono, Musawo Mugerwa Henry agambye nti abantu mu kitundu kino batandise okulwala endwadde eziva ku bukyafu naye ng’obukyafu buno busibuka ku bbula lya kabuyonjo oba obuyumba obukyamibwamu.
Musawo Mugerwa ategeezezza nti abantu bano baabalabula dda okusima n’okuzimba kaabuyonjo naye ne bagaana okuteeka mu nkola ebyabagambibwa. Ono ategeezezza nti tebagenda kuggula bbizinensi zino ezigaddwa okutuusa ng’abaziddukanya bafunye obuyumba obukyamibwamu era ebikwekweto bino bikyagenda mu maaso.
Abamu ku bannanyini bbizinensi ezigaddwa bakkirizza nti ddala tebabadde na buyumba bukyamibwamu wabula ng’omusango bagutadde ku bannanyini mayumba n’ebifo mwe bakolera nga bagamba nti bbo bapangisa nga n’olw’ekyo eky’okusima kaabuyonjo si mulimu gwabwe.
Bano baweze okuteeka ba landiroodi baabwe ku nninga okulaba nga basima zi kaabuyonjo olwo basobole okuggulwawo baddemu okunoonya ensimbi.