Ssaalongo John ng'ali mu maka ge e Bunankanda mu mwaka gwa 2016.

Emboozi ya Ssaalongo John, Eyali Omusomi W’ebirango ku Leediyo Uganda ne CBS

7 minutes, 41 seconds Read

Olunaku lwa leero nga October 21, 2024, eggwanga lyaguddemu encukwe oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’okufa kw’eyali omusomi w’ebirango kayingo, Ssaalongo John Ssekandi Katalikabbe, ng’ono ebirango yabisomera ku Leediyo Uganda, CBS ne Super FM.

Ssaalongo John yazaalibwa June 24, 1934, nga mwana nzaalwa y’e Nabuti mu kibuga Mukono. Ono mutabani wa Yosam Ssettubakkadde ne Miriam Nansubuga ng’era muzzukulu wa Yeremiya Katalikabbe ng’ono yali abeera mu kibuga Mukono mu kiseera kino ewali essomero lya Bishop S.S. Amawulire galaga nti Ssaalongo John yagudde mu kinaabiro kwe kwavudde embeteza, wadde ng’abadde amaze akabanga ng’olumbe lumubala embiriizi.

Emboozi ya Ssaalongo John aginyumya bwati era tugikuleetedde kigambo ku kigambo.

Ssaalongo John ng’obulamu bugonze.

Nnakulira ewali Bishop ss ewaali amaka ga jjajja, Taata yali akolera mu printing place Entebbe, ng’abeera Nkumba, era olwa Ssabbiiti, nga y’abuulira mu kkanisa eyo, mu buto twali Nkumba, naye bwe twatuuka  okusoma, ne batuleeta e Mukono, ng’Entebbe ebiseera ebyo teri masomero ga bakopi, baatuzaala abaana mukaaga era nga nze first born.

Nnatandika okusoma nga nnina emyaka mukaaga, nnatandikira mu P1 butereevu, ffe tetwalina Day Care wadde nnassale, ebyo ku mirembe gyaffe tebyaliyo.

Okusoma nnatandikira ku Bishop Primary School, ne nsoma ng’olwo taata wa Rev. Peter Bakaluba Mukasa nga ye mukulu w’essomero lyaffe. Tetwalina UNEB wadde P.7, twakomanga mu P.6. Nga bw’omala P.6 nga tugenda ku Junior, twakolanga ebibuuzo nga naye biba bya ssomero. Bwe nnamala pulayimale ne ngenda mu Junior, eyo nnagisomera mu ssomero baaliyitanga Luwule, bwe nnatuuka mu J2, taata ne bamuwummuza ku mulimu, n’ava Entebbe ng’amaze okugula ettaka e Nabuti n’ava e Nkumba n’ajja e Nabuti n’azimbawo amaka ge ne tutandika okubeera awo. Olwo bwe nnatuuka mu J3, nga taata ssente zikendedde sso nga bannange baali bakyali mu bibiina bya wansi, taata yantuuza n’angamba nti Ssekandi nkubuulire, eby’okusoma bikomye awo, lwa nsonga nti banno bano obalaba, nabo beetaaga okusoma, ate nga ku mulimu navaayo.

Era nakkiriza kuba ffe twali bakkakkamu nga tetulinga ab’omulembe guno, olwo we nnatandikira okutabaala ne dduniya. Olwo nnalina emyaka nga 19. Mu kusoma, ekyasinga ennyo okunsanyusa, nnali sirabanga ku ggaali ya mukka (train) naye bwe najja okusomera e Luwule, ne ndaba ku ggaali y’omukka. Olwo nga bw’eba enaatera okutuuka ku station yaayo e Kyetume, ng’ekendeeza ku misinde, ngenda okulaba nga bannange abaali bagimanyidde bagibuukira ne bagitambulirako era bw’eba egenda okuddamu okutandika yeeyongereyo ng’eba esimbula ng’etandika mpola, olwo nga balyoka babuukako nga yo ewenyuka byayo. Awo nno nnange bwe nnabatunuulira ebbanga, ne nfuna amabbabbanyi era ne ntandika okukikola, ne nnyumirwa nnyo.

Wabula nga bwe bagamba nti ‘amazina amayigirire gamenya omugongo, bwe yali esimbula ne mbuuka nveeko, ne ngwa, olwo jjukira ebiseera ebyo tetetwalina nsawo, ng’ebitabo tubitambuliza mu ngalo, era nnagwa ne nnuubuka, ebitabo ne bisasaana, ate nga sirina kudda waka, wabula nnalina kweyongerayo ku ssomero, awo nno ne nkulabira…

Waaliwo kojja wange, yali abeera Nakawa ng’akola gwa kwoza ngoye za bantu, (DOBI) baamuyitanga Kamadi, yajja ewaka okutulaba, maama n’amugamba nti mutabaniwo ono omulaba, eby’okusoma byakomye, tumukolere ki. N’amugamba nti tugende naye. Nange ssaali mubi, nga myumyuula ngugu zange nga njolekera kibuga. Bwe nnatuuka eyo, nga ntandika kwoza ngoye, era ogwo bwe nnagukolera ebbanga, ne ntandika n’okugolola. Nga ndi mugolozi mulungi, nze ne gye buli eno, ssaambala bikamulo, nedda! Ekirungi, bwe twali ku ssomero, wali ku pulayimale, twalina abasajja abayonjo ab’ekika ekya waggulu. Twalina Tomasi Makumbi, Tondo, Ssenkubuge nga bonna basomesa bayonjo bazibu, kye baggye bave e Makerere, tomasi ng’akuba olukindo mu mutwe, nga musajja mumpi. Olwo nze kw’abo kwe najja obuyonjo.

Ssaalongo John ng’annyonnyola.

Kojja nze nnali nkola obwa Dobi nga bw’anoonya wa ewalala we nyinza okugenda, nga nnaakamala omwaka nga gumu, yanfunira omulimu ffakitole okulinaana ffakitole ya Tobacco e Kampala. Wabula wadde twabanga bayonjo nnyo nga bwe nkunnyonnyodde, nga tetulina ngatto era nga tukuuta nfudu ng’enjogera y’ennaku zino. Lwe nnasooka okwambala ku ngatto, nnayambala za taata wange omuto, ate nga lusejjera. Engatto ezo zaali njeru, naye taata yaleeta eddagala eriddugavu ne tuzikubako eddagala ne zifuuka nzirugavu. Twalina akabaga ku ssomero, taata kwe kumpa engatto, era n’ampa ne sitookisi, kyokka nno nga twambala mpale nnyimpi, biyite ebinu. Era ku ssomero amazina nagakuba n’omutima gumu nga sirina angambako. Eyo nno ye ngatto gye nnasookerako okwambala. Era bwe nadda ewaka ne ngizzaayo. Ndowooza gwali mwaka gwa 1953. Kojja yanfunira omulimu mu kyuma kya butto. Bwe nnatuuka mu kyuma, nakolayo ssabbiiti emu, ng’obucaafu bungi ng’Omuyovu waabwe sibusobola. Ng’olinnya mu butto abembedde buli wamu, nga bw’okwata ku ssaati kwe bisigala, nga sibisobola. Era awo nnagamba kojja nti wano wannemye bino sijja kubisobola.

Nze nnali saagalira ddala kuba mucaafu, bwe nnava eyo, ate ne banfunira obwa makanika, wabula kye ssaamanya ate nnali mbuuse mu ffulampeni kugwa mu kyooto, nga weebaka wansi w’emmotoka  enfuufu yonna n’ekuyiikira… Era nnaddayo buzzi ewa kkojja ne mmugamba nti kojja, mubutuufu ne guno gunnemye. Ne mmugamba waakiri ka ngire nga nkyagolola ku ngoye. Wabula nnavaako awo ne nzirako mu kyalo ewa taata, olwo taata muto, Moses Ssemmambo (omukama amuwe ekiwummulo eky’emirembe) yali akola ntebe ku kisaawe ky’ennyonyi.

Nne bamugamba bye nnali mpitamu, era n’asuubiza okuntwala Entebbe ku kisaawe ky’ennyonyi ntandike okukola eyo.

Bwe nnakomawo ewaka ne bangamba nti taata yali asuubizza okuntwala okukola ku kisaawe ky’ennyonyi, era nze bwe nnawulira ebyo, ne nkikubako ne kiroka, anti nga mponye kasasiro n’obucaafu. Wiiki eyaddako, taata Ssemmambo n’akomawo era ne nkwatamu obwanguwa ne njolekera Entebbe ng’olwo essanyu nnina lya mwoki wa gonja. Entebbe twali Luwafu, ng’ennyonyi ziba zigenda okugwa ku kisaawe ky’ennyonyi Entebbe nga nziraba nnene bulala. E Mukono e Nabuti gye nnali, ng’ennyonyi tuzirengerera mu bbanga waggulu mu bire, naye wali nga nziraba. Awo nno nnali nkola ku ssimu (telephone operator) era awo oluzungu lwa Junior we nnaluggyirayo.

Awo nnakolawo emyaka ng’ena. Wabula awo baaleeta mmaneja okuva e South Africa, omanyi nga bwe baali abakabbulu, era yajja n’olukabbulu lwe. Olwo mba nnyimiridde mu mulyango, ng’essimu yange eri awo, n’ansanga n’ambuuza nti okolaki wano? Ne mmugamba nti nnyimiriddeko wano nfuna ku mpewo, nanfuma nti enkobe enzirugavu zino, tomanyi mulimu gwo? Awo nno nze nnali sinywa guteeka, ne mmuyisaamu ekikonde. Ne mmugamba toyinza kunvuma, kiki kye nkoze olyoke onvume enkobe enzirugavu! Era kye nnamukola baamunzijako bujja, nga tulwana.

Bwe yavaawo n’adda mu woofiisi, ng’obudde bukyali ssaawa nga mwenda. Bwe yatuuka mu woofiisi, ng’ayita taata ng’agamba nti angobye. Era essaawa bwe yatuuka ey’okunnyuka, taata bwe yakomawo n’agamba nti ebintu si birungi, nti walwanye n’omuzungu era akugobye. Olw’okuba nnali nga ne kavubuka ampaga, saawulira wadde obulumi. Enkeera nnaddayo ku mulimu ne bangamba nti weetaagibwa mu woofiisi, era olwatuuka ne bampa ebbaluwa engoba, ne ntambula ne nvaayo. Ne nkomawo nga nninamu obusente, kwe kwogeramu ne taata nti nninawo ssente zange njagala kugula kibanja. Awo n’agamba basajja banne ku kyalo nti omwana akuze ayagala kibanja, olwo Kipaalo Absolomu n’anguza ekibanja nnusu 230. Ezo nno zzaali ssente ddala, okumanya zaali ssente, ne nnusu kkumi zannema okusasula ne gye buli kati.

Era awo e Nabuti, ge maka gange amakulu. Bwe nnava Entebbe, olwo ate ne ngenda njiga okuzimba. Nnatandikira ku Land Office e Mukono. N’eno ennyumba yange nze nnagizimba n’ey’e Nabuti.

Mu 1963, munnange gwe twasoma naye ku Bishop P/S, Moses Nkangi yampita, n’agamba nti yitawo tugende, n’ampita ku Leediyo Uganda. Era nange nnabukeereza nkokola. Jjajjange yali mubuulizi mu kkanisa, ng’amanyi okusoma ebitabo, taata yali mubuulizi, olwo nange bwino nnali mukazizza bulungi.

Ssaalongo John ng’ali mu nnimiro y’ebibala mu kyalo e Bunankanda.

Era eyali akulira Leediyo Uganda, Kagimu yambuuza nti nnali mmanyi okusoma, ne mmugamba nti akabuuza ggyako. Bantwala ewa Assistant Manager, mukyala Daisy Kibuuka ne bantwala mu situudiyo ne ntandika okusoma okungezesa. Ne mbisoma, ne nkwata ebirala, era olwo amaloboozi ne bagatwala ewa Mw. Kagimu ku ssaawa mwenda.

Oyo olwawulira mu bye nnali nsomye n’agamba nti okutandika n’enkya, ogenda kutandika okusoma ebirango. Wabula ensi evudde wala. Leediyo ebiseera ebyo ng’emu eyinza okuba ekungaanya amaka nga kkumi.

Nnalina akagaali (Bicycle) era nnakalina okuva ku kisaawe, ako nnakagula nnusu 120 ewa ssulutaani. Nga ke nvuga okutuuka e Kampala n’okudda e Mukono. Emmotoka nga si nnyingi, ng’oyinza okuva e Kampala okutuuka e Seeta ng’emmotoka ekuyisizza eri emu.

Ennyumba ya Ssaalongo John esangibwa mu kyalo e Bunankanda.

Olunaku olusooka okusoma ebirango ku leediyo, bwe nnakomawo ewaka, maama nga musanyufu nnyo, n’angwa mu kifuba, taata n’ankwata mu ngalo, n’ampa ssente nnusu abiri n’anneebaza okusoma obulungi. Nnasomera ebirango emyaka gyawerako, okutuusa lwe baakyusa. Nze nnali siriimu kunanaagira nga nsoma ebirango. Era ne ku leediyo oba mu kkanisa bwe mbulira abanaagira n’entereeza y’amannya nayo yafa, ebyo binkola bubi nnyo bwe mbiwulira, binnyiiza.

Oluganda lwafa, empandiika yafa. Weewuunya, omwana n’atuuka mu S.4 naye ng’empandiika nfu. Nze Katonda mmwebaza nti wadde nkaddiye, naye nkyasobola okuwandiika. Naye kati omwana atuuka mu ssiniya nga tamanyi kuwandiika, ssi Luganda, ssi Luzungu.

Emboozi eno Ssaalongo John yaginyumiza ku BBS TV ku pulogulaamu ya Mubuufu eweerezebwa Stella Nandawula. Bino bibadde mu kitundu kisooka, waliwo n’ekitundu eky’okubiri. Yaliwo nga February 11, 2018.

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!