Essanyu mu Buganda, Kabaka Akomyewo ku Butaka Okuva e Namibia

1 minute, 12 seconds Read
Kabaka ng’aywuubira ku bantu be, ku ddyo ye Nabagereka ne Katikkiro emabega.

Essanyu libugaanye Obuganda oluvannyuma lw’okufuna amawulire amatuufu ag’okudda kwa Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II ku butaka okuva e Namibia gy’amaze akabanga ng’awummuddemu.

Okusinziira ku Katikkiro Charles Peter Mayiga, Ssaabasajja e Namibia era abadde mu mikono gy’abasawo abakugu ku nsonga z’obulamu bwe.

Nnaalinnya Lubuga Nabaloga ng’ayaniriza Kabaka.

Omutanda yayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga, Abaana b’Engoma okuli, Omulangira Crispin Jjunju Kiweewa, ne Nnaalinnya Victoria Nkinzi.

Okudda kwa Kabaka we kujjidde ng’Abakulu b’ebika ab’enjawulo kye baggye bakomewo okuva e Namibia gye baali bagenze okulaba Kabaka mu ddwaliro gy’abadde ajjanjabirwa wadde nga kino tekyasoboka ne batuuka kukomawo nga bigaanye.

Ttiimu eyagenda e Namibia yalimu Abataka okulu ow’ekika ky’Effumbe, Omutaka Walusimbi Mbirozankya, Omutaka Kyaddondo, Lwomwa ne Kasujja.

Ennaku ntono eziyise, gavumenti y’e Namibia yavuddeyo n’ekiwandiiko ekitongole ekigaana okwongezaayo olukusa Kabaka okubeera mu nsi yaabwe nga baawadde ensonga ez’enjawulo.

Katikkiro ng’ayogerako ne Kabaka.

Mu nsonga ezaaweereddwa mwe muli eky’abantu abavuddeyo nga babanja okulaba Kabaka nga bateeka akazito ku nsi yaabwe (Namibia) bbo kye baagambye nti kibadde kibasiiga ekifaananyi ekibi n’okubayingiza mu nsonga ze bataliimu.

 

 

 

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!