Ettemu e Mukono: Owa Bodaboda Attiddwa mu Bukambwe

1 minute, 49 seconds Read

Abatuuze okuva ku byalo eby’enjawulo okuli Kikubankima, Nsambwe, Kussatu n’ebirala mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono bakedde kwekuluumulula okweyiwa ku kyalo Kikubankima okudduukirira emiranga egy’okuttibwa kwa mutuuze munnaabwe.

Attiddwa ye Eddie Kaboggoza ng’abadde muvuzi wa bodaboda ng’akolera ku siteegi y’e Nsanvu. Pikipiki y’omugenzi ekika kya UG Boss nnamba UFC 816T abamusse bagireseewo nga kino kyongedde okukanga abatuuze nga tebamanyi kigendererwa ki ekiri emabega w’ettemu lino.

Naked Anti-Corruption Female Protesters Storm Parliament

William Sseguya, munnamawulire w’ekyalo Kikubankima agambye nti ettemu lino lyabadde mu kasenyi mu kabira akalinaanye essomero lya New Horizons Vocational Secondary School ery’omuzungu amanyiddwa ennyo nga Papa owa Noah’s Ark ng’era ye nannyini kibira kino ekifuuse akattiro.

Sseguya agamba nti Kaboggoza alabika okuba nga yattiddwa abantu abaamuteeze ku makya ga leero bwe yabadde akedde okugenda okwenoonyeza ku nnusu.

Omulambo gw’omugenzi ne pikipiki ye we baamuttidde.

Okusinziira ku ssentebe w’ekibiina ekigatta abavuzi ba bodaboda mu ggombolola y’e Nama, bateebereza nti abatemu abasse Kaboggoza babadde babbi ba pikipiki kyokka ng’olumaze okumutta ne bazuula ng’ate pikipiki ye ebadde ya kika kya UG Boss nga n’obukadde nkadde ne basalawo okugirekawo nga bbo ababbi okusinga baagala pikipiki za bajaj.

Jane Francis Nalubowa  omu ku batuuze agamba nti ekifo kino kya bulabe nnyo ng’ababbi bateegerawo abantu ne bababba n’okubatta ng’olumu babikola n’obudde emisana ttuku.

Pikipiki n’omulambo nga biteekeddwa ku kabangali ya poliisi babitwala.

Poliisi okuva e Nama yatuuse n’etegeeza ey’e Mukono eyazze ne kabangali n’eteekako omulambo ne pikipiki y’omugenzi. Omulambo gwatwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mulago okwekebejjebwa.

Obumenyi bw’amateeka mu Mukono busimbye amakanda mu kiseera kino ng’okusinga bwa bijambiya ng’abakola obutemu buno batambulira ku bodaboda nga batema abantu ne beeyongerayo. Mu bbanga lya mwezi nga gumu oguyise, abantu abasoba mu 10 be baakatemebwa nga babiri ku bano battiddwa ng’abakyataawa n’ebisago mwe muli n’akulira eby’obulamu mu munisipaali y’e Mukono, Dr. Anthony Kkonde.

Let others know by sharing

Similar Posts

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

error: Content is protected !!