Omuyimbi Gravity Omutujju akooye abantu abamusibako eky’okubeera omuwemu era nti n’ennyimba ze ziwemula! Ono agamba nti ennyimba ze teziwemula ate naye kennyini tawemula wabula abamu ku bawagizi be bakola ensobi bwe badda ku nnyimba ze ne bazikyusakyusa ne baziggyamu amakulu amalala ate ne bakisiba ku ye mbu awemula, ky’agamba nti si kituufu.
Omutujju Omukujjukujju nga bwe yeeyita, azze akuba hiiti z’ennyimba omuli Ebijanjaalo, Embuzi zaakutudde, Ennyama erimu eggumba, Tombawala, Jjenje mu kituli, Tewemalangamu, Njagaliza, Omukwano, Ye Ssebo, Kkomando, Tik tok, Winner n’olukyasembyeyo olw’Okwepiica.
Ku Lwomukaaga Gravity yakonze lonki ye ey’oluyimba lw’Okwepiica e Lugogo ku Cricket Oval ate ku Ssande n’ayolekera e Mukono ku Summer Gardens nga mu bifo ebyo byombi, yafunye obuwagizi obwamaanyi ddala.
Nga yaakatandika okuyimba e Mukono, Gravity abawagizi baatandise okuddamu nga bw’ayimba, wabula n’abeesooka n’abagaana okuwemulira mu nnyimba ze nti be bamu bano be bamuvumaganya.
Gravity yalinnye ku siteegi ku ssaawa musanvu n’eddakiika 12, ng’okuweeza ku bawagizi nga zigenda mu ssaawa munaana kitundu nga bukya ng’abakubye ennyimba lumu ku lumu mu ngeri ya ‘nonstop’ kumpi essaawa emu n’ekitundu nnambirira.
Mu kusooka, Gravity yawerekeddwako abayimbi ate abanene ab’amannya abaasanyusizza abawagizi abaakulembeddwa ddokita w’omuziki Jose Chameleon, King Saha, Ray G, Jovan Luzinda, Catherine Kusaasira, Khalifa Aganaga, Green Daddy, Tom D, Betty Mpologoma, Irene Namatovu, Big Eye, Lil Pazo n’abalala bangi.
Omuyimbi omugole era mukyala Musumba, Vivian Tendo yeewuunyisizza abawagizi naye bw’ataalutumiddwa mwana mu kivvulu kino eky’Okwepiica mpozzi ne Princes Amiirah ng’ono naye abadde abuliridde.
Ng’anaatera okuyimba oluyimba lw’olunaku olwa Jangu Tugende mu Kwepiica, Gravity yasoose kulya mulondo n’ategeeza n’abawagizi be nga bwe basaanidde okulya ku mulondo olw’obulamu n’amaka amalungi.