Buli May 3, lwe lunaku lw’eddembe ly’ab’amawulire olw’ensi yonna. Mu mbeera eyo, ab’amawulire abakakkalabiza emirimu gyabwe mu mikutu egy’enjawulo nga basinziira mu bbendobendo ly’e Mukono beegasse ku bannaabwe okukuza olunaku luno.
Bano bakungaanidde ku lutikko y’Abatukuvu Firipo ne Ndereya mu kibuga Mukono mu kusaba okukulembeddwa Provost wa Lutikko eno, Godfrey Ssengendo ng’ayambibwako Vviika wa Lutikko, Rev. Daniel Balabyekkubo.
Bano bakulembeddwamu akulira ekitongole ky’amawulire mu bulabirizi bw’e Mukono, Moses Ssewankambo, akulira eby’amawulire mu lutikko, Paddy Nsobya ne Ivan Kimbowa, akulira ab’amawulire abeegattira mu Mukono wansi w’ekibiina kya Uganda Journalist’s Network (UJN).
Ng’abuulira, Canon Ssengendo asiimye omulimu ogukolebwa ab’amawulire mu ggwanga n’agamba nti bano bantu ba mugaso nnyo wadde ng’ate oluusi batuntuzibwa ky’agambye nti si kituufu.

Abasabye obutaggwamu maanyi n’agamba nti basaanidde okwongeramu amaanyi okwanika abakungu ba gavumenti abaluvu n’abantu abali mu bifo eby’amaanyi abakola ebitasaanidde era ebitaggya nsa.
“Waliwo abantu Katonda be yayamba ne basoma ne basobola okutuukako mu bifo eby’obuvunaanyizibwa mu ggwanga wabula nga tebaakuzibwa na mpisa. Bano be beenyigira mu mize egy’enjawulo gye tuwulira omuli n’obulyake, obukenuzi n’emirala. Wabula wadde abamu ku ffe tuyinza okubeera n’ensonyi ne tutya okubagambako, kirungi ng’abamawulire bano babawandiikako olw’ebyo ebiba bitagenda bulungi ng’oluusi abamu bakyusaamu. N’olw’ekyo temusaanye kukoowa, ffe omulimu gwe mukola tugusiima,” Canon Ssengendo bw’ategeezezza.
Ye Ssewankambo akunze ab’amawulire naddala abakolera e Mukono okwegatta babeere kimu ng’olwo lwe bajja okusobola okugenda mu maaso n’okusaka ka kibeere mu gavumenti ebinaabayamba okwekulaakulanya n’okweggya mu bwavu.
Ivan Kimbowa asabye gavumenti okuyamba ab’amawulire okuteekawo embeera eziyamba ab’amawulire okwekulaakulanya.
Kimbowa awadde ab’amawulire amagezi okufuba okuteeka obukugu mu mirimu gyabwe n’okwekenneenya ennyo amawulire ge bakola kibayambe okubeera n’enjawulo kw’abo abagula obusimu ne batandika okuweereza ng’ab’amawulire wadde nga baba tebaasoma mawulire.

Lydia Nakiguli ow’amawulire wa Bukedde TV naye asiimye enteekateeka eno gye beenyigiddemu olwa bannaddiini ababeegasseeko ne babasabira okulaba ng’omulimu gwabwe gutereera n’okwongera okubeera ogw’omugaso eri ensi n’ebitundu gye baweerereza.
Kkansala Ssebunnya John Ronald asabye gavumenti okuvaayo ewulirize okusaba kw’ab’amawulire ebateekerewo embeera ennungi mwe bayinza okukolera kuba omulimu gwabwe gwa mugaso nnyo eri eggwanga.




