BYA TONNY EVANS NGABO | WAKISO | KYAGGWE TV | Gavumenti erabuddwa nti singa teteeereza nkaayana wamu n’emivuyo egiyitiridde ku ttaka naddala mu bitundu bya Buganda, eby’enfuna by’eggwanga byolekedde okudobonkana. Okulabula kuno kukoleddwa eyaliko Ssaabawolereza wa Buganda era nga yali Minisita w’essiga eddamuzi ne ssemateeka mu mwaka gwa 1977 munnamateeka Godfrey Sserunkuuma Lule. Sserukuuma […]
BYA TONNY EVANS NGABO | BUSSI | KYAGGWE TV | Bassentebe b’ebyalo mu ggombolola y’e Bussi mu disitulikiti y’e Wakiso batabukidde gavumenti olw’okubakandaaliriza okubasasula ensimbi omutwalo mutwalo ogwa buli mwezi gw’ebasasula olw’obuweereza bwe bakola mu bitundu byabwe. Bano bagamba nti okumala omwaka mulamba, tebafuna wadde ekikumi ky’ensimbi nga kati y’ensonga lwaki basazeewo okusitula ku ddoboozi […]
Bya Tonny Evans Ngabo Abavubi ba mukene abasoba mu 700 ku kizinga ky’e Kav’enyanja ku kyalo Kacanga mu ggombolola y’e Bussi mu disitulikiti y’e Wakiso boolekedde okutondoka nga bafa olw’enjala olw’okubulwa eky’okulya. Entabwe ava ku kiragiro kya minisita omubeezi ow’eby’obuvubi, Hellen Adoa okuwera enkola eyeeyambisibwa abavubi mu kuvuba mukene, emanyiddwa nga hariyaapu ng’agamba nti eno […]
Bya Tonny Evans Ngabo Ssentebe wa district ye wakiso Dr. Matia Lwanga Bwanika ssi musanyufu olw’abakulu mu gavumenti naddala minisitule y’eby’entambula mu ggwanga olw’okulemererwa okukola ku nsonga eziruma abantu mu bizinga by’e Bussi mu disitulikiti y’e Wakiso ekireetedde n’abakozi ba gavumenti be basindika mu bizinga okugaana okukolera e Bussi nga kigootanyizza nnyo obuweereza bw’emirimu mu […]
Bya Tony Evans Ngabo Ng’abazadde mu ggwanga lyonna bali mu keetereekerero ak’okuzza abaana mu masomero agagenda okuggulawo mu butongole olunaku lw’enkya ku Mmande, Omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Busiro, Ssebwana Ying. Charles Kiberu Kisiriiza akangudde ku ddoboozi eri abazadde abatayagala kutuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe obw’okuweerera abaana be bazaala. Ssebwana okusinga anokoddeyo abazadde abawangaalira mu bizinga […]