Bya Tonny Evans Ngabo
Abavubi ba mukene abasoba mu 700 ku kizinga ky’e Kav’enyanja ku kyalo Kacanga mu ggombolola y’e Bussi mu disitulikiti y’e Wakiso boolekedde okutondoka nga bafa olw’enjala olw’okubulwa eky’okulya.
Entabwe ava ku kiragiro kya minisita omubeezi ow’eby’obuvubi, Hellen Adoa okuwera enkola eyeeyambisibwa abavubi mu kuvuba mukene, emanyiddwa nga hariyaapu ng’agamba nti eno yali ekozesebwa mu kuvuba si mukene yekka wabula n’obwennyanja obuto ng’eno y’emmanduso y’okubula kw’eby’ennyanja mu nnyanja.
Mu myalo gyonna ewabadde wavubibwa mukene, we twogerera ng’abantu ababadde abangi ddala abayimirirawo ku mulimu gwa mukene nga beerya nkuta olw’okugobebwa mu mulimu guno ogw’okuvuba.
Minisita Adoa yalagira abavubi bwe bawulira nga bakyetaaga okuvuba mukene, bavubise envuba eyali yawerebwa ate olw’okuba yazuulibwa ng’emenya mateeka emanyiddwa ng’ey’oluseno oba chota chota ng’eno evubibwa kumpi n’olubalama.
Eby’embi, kkansala Edward Sserunkuuma agamba nti okuvuba mu mazzi amampi Minisita g’abasindikamu, baba balina kukozesa bwato butono ate obwamenyebwa okuggwawo abasirikale abalwanyisa envuba embi olw’okuba nabwo butwalibwa ng’envuba emenya amateeka.
“Kano kaali kakodyo kaakugoba nvuba ya mukene kuba obwato obwo obutono tebuyinza kukkirizibwa ku nnyanja. Kino kikyamu kuba tekyakoleddwa mu mutima mulungi wabula abavubi b’empuuta be bakiri emabega olw’embiranye gye babadde nayo okumala ekiseera n’abavubi ba mukene,” Sserunkuuma bw’annyonnyola.
Abavubi bano okutuuka okuva mu mbeera ne beerya omuguju bategeezazza nti gavumenti eringa eyabasaddaase bafiire ku kizinga ng’era balaajanidde be kikwatako okubaddukirira kubanga kati tewali we basobola kujja kikumi nga n’ensimbi zokka ezibazza ewaabwe tebazirina mu kiseera kino.
Abavubi bano bagamba boolekedde okutondoka nga baffa enjala kuba tebakyalina webajja kya kulya era ne basaba abazira kisa okuvaayo babaddukirire mu kadde kano.
Abakulembeze basaba gavumenti erowooze ku ky’okuwa abavubi ebbanga eggere nga bavuba nga bwe bakungaanya ensimbi ezinaabasobozesa okusenguka okuva ku nnyanja okudda mu bitundu ebirala n’okutandikawo bbizinensi endala.
Ekizinga kino kiwangaalirako abavubi abasoba mu 800 nga wabula abavubi abasinga baakisengako olw’omulimu gw’okuvuba mukene ng’era kati bukyanga gavumenti evaayo n’ekiragiro kino gugenda kuwera mwezi mulamba era bano ge bakaaba ge bakomba.